Abajulizi 10 bebagenda okulumiriza minister omubeezi ow’ensonga ze Kalamojja , era ye mubaka omukyala owa District ye Buduuda Agnes Nanduttu ku misango gy’okwezibika amabaati g’abawejjere be Karamojja.
David Bisamunyu munnamateeka okuva mu kitongole kya sabawaabi w’emisango gya governmenr bino abitegeezezza kkooti enkulu ewozesa abalyake n’abakenuzi e Kololo, bw’ebadde etudde okutandika okuwulira omusango oguvunaanibwa minister Nandutu.
Kyokka omusango guno tegusobose kuwulirwa ate omuwaabi wa government bwategeezezza kkooti nti abajulizi b’abadde asuubira okutandika nabo tabafunye kubanga abamu babaddeko n’emisango gyebavunaanibwa mu kkooti endala.
Omulamuzi Jane Kajuga ayongezaayo omusango guno okutuusa 4th omwezi ogwa July, 2023 kiwe omwagaanya oludda oluwaabi okuleeta abajulizi.
Minister Nanduttu avunaanibwa ava waka, kigambibwa nti wakati wa June omwaka 2022 ne February 2023 yezibika amabaati g’abakalamoja 2000, agaali gaweereddwayo government nge’yita mu wofiisi ya ssaabaminister.
Nandutu avunaanibwa ne ba minister abalala okuli owe Kalamoja Maria Gorret Kitutu, omubeezi ow’ebyensimbi Amos Lugoloobi n’abalala.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam