Wabadewo okuwanyisiganya ebisongovu wakati wa bagoba ba Taxi n’abakulembeze baabwe ku stage ya Bunnamwaya mu Park Empya mu Kampala, ng’entabwe eva ku kukandaaliriza okubawa ebyapa ebyabasuubizibwa mu nsimbi zebazze batereka mu kibiina kyabwe.
Abagoba ba Taxi bano mu nsisinkano gyebabaddemu n’amyuuka RCC wa Kampala Geofrey Sserwadde mu Park Empya, bategezezza nti okuva mu 2019 bazze basalibwako ensimbi wakati we mitwalo 200,000 ne 500,000 buli luvuga, nga zirina okugenda mu kibiina kyabwe.
Mu nsimbi zino baasuubizibwa okufuna ebyapa by’ettaka 105, era be ba memba abaalimu nga buli memba afuna kikye.
Okuwanyisiganya ebigambo kuzeewo oluvanyuma lwa bakulembeze okutandika okulumiriza abamu kubagoba ba Taxi nti baalemwa okusasula ensimbi zino, nga mukaseera kano ekibiina kirinako ebyapa 27 byokka ebyaba memba ababadde basasula ensimbi zino.
Amyuuka omubaka wa government mu Kampala Geofrey Sserwadda alagidde ebyapa 27 olukiiko lwebyagula biweebwe bannyinibyo, era n’alagira omulimu ogw’okukuηηanya ensimbi zino gukolebwe bagoba bannabwe awatali bakulembze kuguyingiramu.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius