Abagambibwa okubulankanya ensimbi za Parish Development Model mu muluka gwe Nakabugo mu ggombola ya Wakiso Mumyuka bakiguddeko, oluvannyuma lw’abatuuze okubalumiriza okubawa ssente ez’ebitundu kyoka ate ez’abateekesaako emikono nazo ndala.
Omubaka wa president mu district ye wakiso Justine Mbabazi o police okukwata akulira omuluka guno wamu ne bassentebe ba Sacco babbiri .
Abakwattiddwa ye parish Chief w’omuluka guno Naluggwa Jannie , Lwanga Vicent ssentebe wa Bulenga Meat dealers wamu ne Nakyejwe Hajara owa Nankuwadde banana dealers.
Batwaliddwa ku poliisi ye Bulenga banyonyole gyebaateeka ssente za government.
Bino byona bibadde mu lukiiko olwayitiddwa RDC kukyalo Bulenga.
Wabula abakwatte banno bategeezeza nti balangibwa bwemage kubanga nti ekizibu kiva waggulu mubakama babwe ababalagira okugaba ensimbi ez’ebitundu .
RDC Justine Mbabazi agamba nti bakooye ekkobaane ly’abakozi ba government okubba ensimbi zabawejjere nga era ssibakuttira liiso muntu yenna anasangibwa mu bubbi obw’engeri zonna.
Abantu 157 bebaawebwa ensimbi zino kumutendera ogwasooka mu muluka gwe Nakabugo, wabula 17 bokka bebasobodde okujja mu lukiiko luno.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo