Police ye Jinja erikumuyiggo gw’omugoba w’emmotoka ya Isuzu No. KBD9015U, agambibwa okuba nti abadde asumagira neemuva mu ngalo netomera omuvubuka abadde ayoza Taxis NO. UED238L e Bugembe ku luguudo okuva e Jinja okudda e Iganga.
Ayogerera police e Busoga SP James Mubi agamba nti omugenzi ye Kimumwe Sulayi, omulambo gwe gutwaliddwa mu ggwanika ly’edddwaliro ekkulu e Jinja.
Mubi alabudde abagoba b’ebidduka abavuga nga bakoowu, nagamba nti kyekimu kubiviirako obubenje.
Bisakiddwa: Kirabira Fred