Abatemu bateeze omugagga Ddamulira John owe Kyotera , basindiridde emmotoka ye amasasi negayitamu negamwasa omutwe.
Kigambibwa nti ababbi bamugwikirizza ava mu bank e Kyotera, era ensimbi bakuuliise nazo.
Abaddukirize bagamba nti bawulidde amasasi agavuga ku ssaawa nga 4 n’eddakiika 25 ez’okumakya nebekukuma.
Wabula oluvannyuma lw’ekiseera bavuddeyo nebagenda okulaba ogubadde, basanze Ddamulira John avaamu omusaayi mungi nrbamuddusa mu ddwaliro e Kaliisizo, wabula ng’embeera gy’alimu mbi nnyo, abasawo kwekumussa mu Ambulance nebamwongerayo mu ddwaliro e Kampala.
Obubbi bw’emmundu buzze bweyongera mu bitundu bye Kyotera, nga negyebuvuddeko, ababbi b’emmundu baayingirira edduuka lya mobile money, nebakuuliita n’ensimbi ezisoba mu bukadde bwa shs 150.
Bisakiddwa: Ssozi Ssekimpi Lwazi