Ababbi b’ebisolo bongodde okusuza bannyini bisolo nga tebeebase mu byalo ne mu bibuga.
Mu kiro ekikeesezza olwa Friday nga 05 May,2023 ababbi balumbye ente z’omubuulizi Sam Mahulu ku kanisa ye Bbira Bulenga ku luguudo oluva e Kampala okudda e Mityana mu bulabirizi bwe Namirembe, nebazibaaga.
Ente zino abadde azirundira mu maka ge, ababbi bazibaaze nebasalako ennyama enjere yokka nebakuuuliita nayo, ebisigadde nebalekaawo.
Omubuulizi n’abomumaka ge basanzeewo mutwe gw’ente, eddiba, ebyenda, n’amagumba.
Bino webigidde ng’abatuuze be Bukulula mu district ye Kalungu kyebajje bagwikirize abasajja babiri bebaateeberezza okuba ababbi b’ente nebabakuba emiggo egyabasse, n’emmotoka No.UBM 099 J nebagiteekera omuliro.#