Abakulembeze ba NRM okuli abamu ku babaka ba parliament n’abakulembeze ba government abatali bamu e Busoga , bayisizza ekiteeso okuwagira Omubaka omukyala owa district ye Kamuli era omumyuka asooka owa Ssabaminister w’eggwanga Rebecca Alitwaala Kadaga ku kifo kyomumyuuka wa ssentebbe wa NRM owokubiri
Basinzidde ku Civil service Colleague e Jinja nebeerondamu n’obukulembeze bwebagambye nti bwebugenda okutalaaga eggwanga okunoonyeza mukyaala Kadaga akalulu.
Abakulembeze bano okuva e Busoga bakaanyizza kimu nti Busoga tesobola kuviibwako Kadaga era bakulwana okukuuka ejjembe, okutuusa nga Kadaga asigazza ekifo ekyo ekyomumyuuka owokubiri owa ssentebe wa NRM mu ggwanga
Brandon Kintu omubaka wa Kagoma yalondeddwa okukulemberamu enteekateeka z’okunoonyeza mukyala Kadaga akalulu.
Kadaga ekifo kino kyamazeeko emyaka egiwerako, mu kiseera kino akivuganyaako ne sipiika wa parliament Anita Annet Among
Wabula waliwo ababaka ba parliament okuva e Busoga abaali baavayo edda nebalangirira nti bawagira Anita Among okutwaala ekifo kino, bano Brandon Kintu abayise balabe ba Busoga.
Ababaka abawagira Anitah Annet Among bno bagala Rebecca Kadaga bamufunire ekifo ekirala kyaba akulembera, eky’obumyuma bwa ssentebe akirekere Among.
Rebecca Alitwaala Kadaga mu kalulu k’omwaka 2020 ku kifo kyekimu yattunka ne Persis Namuganza minister omubeezi ow’ebyettaka bwebaali tebalima kambugu, wabula werutuukidde olwaleero ababiri bano balinnya mu kimu oluvanyuma lwa Namuganza okutabuka ne sipiika Anita Among.#