Ababaka ba parliament batandise kakuyege w’okunoonya anadda mu ntebe ya sipiika wa parliament, oluvannyuma lw’abadde sipiika Jacob Oulanyah okufa.
Wabula mu kiseera kino tewali mubaka noomu yavuddeyo kweyogerera nti ayagala ekifo kino.
Ssemateeka w’eggwanga ennyingo eye 82 akatundu 4 , egamba nti singa ekifo kya sipiika kisigala nga kikalu, palament erina okukijjuza nga tenabaako mulimu gwonna gwekola.
Kino kireetedde ababaka okutandika okukuba kakuyege w’okulonda sipiika omuggya, nga betegekera okukungubagira abadde sipiika Jacob Oualanya.
Wadde omumyuuka wa sipiika waali, etteeka terimwogerako nti oba asobola okukubiriza olutuula lwonna nga sipiika avuddewo.
Wabula ennyingo yeemu eye 82 eya ssemateeka w’eggwanga, obuyinza obukubiriza olutuula lwa parliament okujjuza ekifo kya sipiika yabukwasa ssaabalamuzi w’eggwanga, nga mu kiseera kino ye Alfonse Owinyi Dollo.
Envuuvuumo zaatandise dda mu palament era waliwo ababaka abawuliddwa nga baliko bebakuutira akadingiddi okudda mu kifo kya Oulanya.
Asuman Basalirwa omubaka wa Bugiri era munnamateeka agambye nti ssabalamuzi weggwanga yalina okufulumya enteekateeka eyokulonda sipiika wa parliament mu bwangu, bakungubagire Jacob Oulanyah mu bitiibwa bya parliament ebijjuvu.
Waliwo abamu ku babaka abali mu kakuyege womumyuuka wa sipiika Anita Among nti naye ekifo kino akyagala, wabula ono tanavaayo kweyogerera nti ekifo kino akyagala.
Kinnajjukirwa nti gyebuvuddeko envuuvuumo zino bwezaatandiika nti ekifo kya sipiika Anita Among akyagala, yasinziira mu palament nabyeewakana.
Anita Among yagamba nti wakubeera omumyuka wa sipiika okumala emyaka 10, oluvanyuma yesimbewo afuuke sipiika era okumala emyaka 10.
Omubaka wa Buyaga west Banabas Tinkasimire akisiinyizaako nti singa eyali sipiika wa parliament eye 10, Rebecca Alitwaala Kadaga akomawo neyeesimbawo, kyakwongera ebbugumu mu kakuyege ono, naagamba nti singa nekifo kyomumyuuka wa sipiika kisigala kikalu, omubaka wa Lwemiyaga Theodore Ssekikubo akyagala.
Abamu basonze ku Jacob Oboth Oboth minister omubeezi owebyokwerinda ng’ono yavuganyaako ku ky’obumyuka bwa sipiika, mu kulonda okuwedde.
Nampala woludda Oluvuganya gavument mu palament JohnBaptist Nambeshe agambye nti olukiiko lwaba minisita ku ludda oluvuganya government, nalwo lwakutuula enkya ku lw’okubiri lwogere ku nsonga eno eyokujjuza ekifo kya sipiika.
Nathan Itungo omubaka wa Kashari North mu district te Mbarara ye awadde babaka banne amagezi, nti baguumikirize ekibiina kya NRM, kyekiba kisalawo ku muntu anadda mu kifo ekyo.
Oulanya ye sipiika wa palament asoose mu byafaayo bya Uganda okufiira mu offisi, ngekifo kya sipiika akimazeemu emyezi 8 gyokka