Ababaka ba parliament okuli aba DP ne NUP ababadde begattira mu kibiina kya G20 kyebagunjaawo okukulaakulanya ebitundu byabwe ,batandise okuwandiikira kalaani wa parliament nga bayimiriza omutemwa gw’ensimbi zebabadde bateeka mu nsawo y’ekibiina kino.
Balumiriza abakulembeze b’ekibiina kino okukkakana ku nsimbi zebatereka mu nsawo yaakyo nebazibulaankanya.
Ababaka 20, baatandiikawo ekibiina kino ku ntandiikwa ya parliament eye 10, n’ekigendererwa eky’okusonda ensimbi, okwewagira mu bitundu byabwe nga bakola ku nsonga eziruma ebitundu gyebakiikirira.
Buli mwezi, buli mubaka abadde awaayo ensimbi million 2 ezibadde zisalibwa obutereevu okuva ku musaala gwabuli mubaka nga zigenda mu nsawo y’ekibiina kino, nga buli mwezi babadde beesondamu obukadde obuli eyo mu 40.
Nnabe mu kibiina kino, yatandiika ekuseera kino ekiyise,ba memba bwebaakizuula nti abakulembeze b’ekibiina kino ate ensimbi bazibulangakya.
Kyategerekeka nti ba memba baali basazeewo okugoba ababaka abo abaali bavunanyizibwa ku nsawo y’ekibiina era awo okusika omuguwa wekwatandiikira, okutuusa ababaka abamu lwebaatandiise okuwandiikira kalaani wa parliament nga bayimiriza ensimbi ezibadde zigenda mu nsawo eno.
Hellen Nakimuli agamba nti ye yasalawo naava mu mukago guno, nti kubanga gwali gusse okubeeramu enkaayana.#