Obukulembeze bw’akabondo k’ababaka bannakibiina ki NUP mu parliament bulagidde ababaka bannaNUP obutetantala kutwala nsimbi obukadde bwa ashs 100 eziwulirwa nti zigenda kuwebwa buli mubaka wa parliament okwekubako enfuufu.
Ensonga za sente zino zaasoose kuteekebwa mu lwatu, omukulembeze w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu, mweyalabulidde ababaka be aba NUP nti tebetantala okutwala ensimbi ezo
Akabondo k’ababaka bannaNUP akatudde ku parliament, aketabiddwamu ababaka bannaNUP, abakulembeze bakabondo kano balabudde ababaka ku buzibu obuboolekedde singa betantala nebatwaala ensimbi zino
Ensimbi ezogerwaako envuuvuumo ziraga nti zigenda kuweebwa ababaka okubeebaza olwokuyisa embalirira eyenyongereza eya trillion 3 nekitundu, parliament zeyayisa gyebuvuddeko.
Ensisinkano y’ababaka ba NUP eno, ekubiriziddwa akulira oludda oluvuganya government Owek Mathias Mpuuga Nsamba, alabudde ababaka nti boolekedde akaseera akazibu ddala, singa bagezaako okutwala ensimbi ezo nga bwekiwulirwa nti zigenda kugabibwa.
Embeera y’ensimbi okugabibwa mu ngeri efaananako bweti kinnajjukirwa nti yateeka ababaka ba NUP mu parliament mu kusoomozebwa mu mwaka gwa 2022, bwekyawulirwa nti buli mubaka yaweebwa obukadde 40 yekubeko enfuufu
Omukulembeze w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu bweyalagira ababaka abaali bakkiriza nti baazifunye, okuzizaayo bangi batandiika okutuusa ebigambo byabwe.
Ebisaliddwawo mu nsisinkano y’akabondo ka NUP bayisizza ekiteeso eky’okwesoonyiwa okufuna ensimbi zino eziwulirwa mu nvuuvuumo.#