Ababaka ba parliament 9 baabulidde ekibiina kya Forum for Democratic Change, nebegatta ku kibiina ekiggya ki Peoples Front For Freedom (PFF).
Kuliko Ibrahim SSemujju Nganda omubaka wa munisipaali ye Kira , Moses Kabuusu omubaka wa Kyamuswa, Nyakato Asinansi omubaka omukyala owekibuga Hoima, Kamara Nicolas omubaka wa munisipaali ye Kabaale ne Atkins Katusabe omubaka wa Bukonzo East.
Abalala kuliko Harold Muhindo omubaka wa Bukonzo West, Naboth Namanya omubaka wa Rubabo e Rukungiri, Francis Mwijukye omubaka wa Buuhweju ne Betty Awor Ochan omubaka omukyala ow’ekibuga Gulu.
Sipiika wa Parliament Anita Annet Among abadde mu lutuula lwa parliament mu kisaawe e Kololo, mu kusoma embalirira y’eggwanga ey’omwaka 2025/2026, naalangirira nti ababaka bano bamuwandiikidde nebamutegeeza nti baabulidde FDC okwegatta ku PFF.
Ababaka bano 9 abaabulidde FDC okwegatta ku PFF, bagasse ku babaka abalala okuli Anthony Akol Owa Kilak North, Emanuel Ongerietho owa Jonam Country saako Okot Bitek Moses owa Kioga county abeegatta ku NRM okuva mu FDC.
Ssemateeka w’eggwanga n’ettteeka eriruηamya okulonda kw’ababaka ba parliament akkiriza ababaka mu mwaka ogusembayo okwabulira ebibiina ebitali bimu okwegatta ku birala.#