![](https://blog.cbsfm.ug/wp-content/uploads/2021/12/IMG-20211130-WA0054-1-1024x597.jpg)
Ababaka bakabondo ka NRM mu parliament nga bakulembeddwamu nampala wa government Thomas Tayebwa leero bayozayozezza omumyuka wa sipiika wa parliament Anita Among olwokutuuka ku mazaalibwage agaaliwo gyebuvuddeko.
Bamutwalidde ekirabo ekya keeki ewumdiddwa mu langi eya kyenvu era ng’eriko nakabonero k’ekibiina kyabwe, ebimuli n’ebirabo ebirala babimusanzizza mu wofiisi ye bamuguddeko bugwi nga tebasoose kumugamba.
Nampala wa government Thomas Tayebwa akulembeddemu banne atenderezza emirimu
emirungi omumyuka wa sipiika Anita Among gyakoledde parliament mu kaseera akatono keyakamala
nga omumyuka wa sipiika wa palamenti.
Anita Among abadde amaze emyezi ena ng’akubiriza palamenti, olwa sipiika Jacob Oulanyah abadde amaze akaseera nga mulwadde.