Abatuunzi b’endokwa z’emmwanyi bayiseeyise mu babaka ba parliment bannakibiina ki NRM, nti basuule mu kasero enteekateeka government gyerina ey’okuggyawo ekitongole ekivunanyizibwa ku mmwaanyi ki Uganda Coffee Development Authority (UCDA), obuvunaanyizibwa bwakyo budde mu ministry y’ebyobulimi.
Abalimi bano bagambye nti okugyawo ekitongole kino kandibeera akakodyo kokukwata ekirime ky’emmwaanyi nebyenfuna byonna ebitambulira ku kirime kino okubikwasa abantu abeeyita bamusiga nsimbi, nga government bweyali eyagala okukola gyebuvuddeko.
President Yoweri Kaguta Museveni era ssentebbe w’ekibiina ki NRM, agenda kusisinkana ababaka bannaNRM mu maka gobwa President Entebbe olwa leero, 16 August,2024 okusalawo ekyenkomeredde ku ludda olwa NRM, ku bitongole byonna byeyagala okuggyawo.
Kuliko ekitongole ki UCDA ekivunaanyizibwa ku mmwaanyi, ekitongole kyenguudo ki UNRA, ekitongole ki NITA-U ekivunanyizibwa ku mayengo ga Yintanenti, ekitongole ki Uganda Road fund, ekitongole ki NAADS nebirala.
Busuulwa Fred ssentebe wekibiina ekitaba bannanyini Mmerezo z’emmwaanyi ki Masaka City Coffee Nursey Operators Association, agambye nti singa ekitongole ki UCDA kizzibwa wansi wa ministry y’ebyobulimi, gweguggya okuba omusumaali ogusembayo okuttattana ekirime ky’emmwaanyi, bannauganda bangi kyebabadde basibiddeko olukoba okuyimirizaawo ebyenfuna byabwe
Wabula omwogezi wakabondo kababaka bannaNRM mu parliament Alex Brandon Kintu agambye nti bagenda kwegendereza nnyo mu nsalawo yaabwe nga bannaNRM ku nsonga ekwata ku kitongole kya UCDA nekirime ky’emmwanyi kino
Okusalawo ku biseera ebyomumaaso ebyekitongole ki UCDA, kujjira mu kiseera nga ebibalo ebivanyuma ebyaafulumizibwa ekitongole ekyo omwezi oguwedde byaalaga nti waaliwo okugenda mu maaso mu byenfuna ebitambulira ku kirime ky’emmwanyi.
Omwaka gwa 2023/2024, Uganda yatunda obukadde bw’ensawo z’emmwanyi 6.13 ku katale kensi yonna, ezaabalirirwaamu akawumbi ka ddoola za America 1 n’ebukadde 144 nga ze trillion 4 n’obuwumbi 236 eza shilling ya Uganda.