Abantu 3 bakwatiddwa mu district ye Nakaseke nga bateberezebwa okubba akabokisi ka mutuuze munaabwe Jamaada Bogere mwabadde atereka ensimbi ze.
Baagenze okukabba kiteeberezebwa nti abadde yakaterekamu obukadde bwa shs mwenda (9) bulambirira.
Abakwate kuliko Abdul Makanga, Ssekasi Adam ne Godfrey Ondama abatuuze be Mpindi mu gombolola ye Kikamulo mu district ye Nakaseke.
Omwogezi wa police mu bitundu ebyo Sam Twinamasiko agambye nti Bogere yawaabye mangu omusango ku police netwala embwa ekoonga olusu, yaggukidde mu nnyumba ya Ssekasi Adam mw’abadde asula ne banne abalala 2 era bonna nebakwatibwa.
Wabula bagenze okubakwata ng’akabokisi kakyabalemye okuggula, kwekutwala police mu nsiko gyebabadde bakakukulidde.
Bisakiddwa: Taaka Conslata