Ebipya bizuuse ku ba kijambiya abaayingiridde amaka g’omwawule ow’ekkanisa ya Uganda eyawummula Rev Samuel Kizito Kyakulaga, bwe kizuuliddwa nti abazigu abaamuyingiridde baana nzalwa ya kitundu.
Abazigu ab’ebijambiya baayingiridde omusumba omuwummuze mu makaage agali ku kyalo Wabitembe- Buwambo mu Nansana municipality, ne babakuba n’okubasibira mu nnyumba.
Ba kijambiya bano baanyagaze ebintu by’omu nnyumba, ne bagattako ensimbi enkalu n’ezaabadde ku ssimu ne bazibaggyako.
Bwebaavudde awo omunyago gwabwe ne bagutikka mu mmotoka y’omusumba nayo nebakuuliita nayo.
Amyuka RDC w’e Nansana Charles Lwanga agambye nti engabo bagirumizza mannyo mu kuyigga ba ssempape abo, era police byeyaakazuulawo biraga nti abaayinghiridde omusumba baana nzaalwa za ku kitundu.
Omusumba omuwummuze Samuel Kizito yannyonnyodde nti ba kyalakimpadde bano baabakkakkanyeeko ne babakuba mizibu, nti ate oluvannyuma lw’okubanyaga, emmotoka yabwe ate baagikozesezza mu kunyaga amaka amalala.
Bisakidswa: Ddungu Davis