Ebiwoobe nókwazirana bibuutikidde essomero lya Nakanyonyi church of Uganda Secondary School mu district ye Mukono, abayizi balyidde ebiteberezebwa okubeera obutwa mu mmere.
Embeera eno ezzeewo ng’abayizi bakamala okulya eky’emisana.
Ambulance zisombye abayizi abasukka mu 600 baddusibwa mu malwaliro.
Ziwa Shafiq asangiddwa mu ddwaliro erimu mutoowe gy’addusidwa okufuna obujanjabi agambye nti tebanamanya kituufu bayizi kyebalidde, era nga n’abakulira essomero tebanabaako kyebogera.
Ayogerera police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti batandikiddewo okunoonyereza ku mbeera ebaddewo ku ssomero, era n’ategeeza nti tewali mwana yenna afudde.
Gyebuvuddeko waliwo abantu abaalumba essomero lino nebakuba abaawule b’e Kanisa, nga byekuusa ku nkaayana z’ettaka.
Bisakiddwa: Sharif Lukenge