Abantu basatu nga bonna baana balenzi bafiiridde mu kabenje akagudde e Buloba Njeru ku luguudo oluva e Jinja okudda e Kayunga.
Abaana bano babadde batambulira ku kagaali nga basala oluguudo okugenda ku luzzi, loole y’ebikajjo NO. UBM 638 E nebakoona.
Sentebe we kyalo Buloba, Maasa Yafeesi agambye nti Omwana ow’emyaka 14 n’omulala owe 10 bafiiriddewo mbulaga, ate owokusatu kigambibwa nti naye afudde addusibwa mu ddwaliro.
Police emirambo gyonsatule egitutte mu ggwanika ly’eddwaliro lye Jinja.
Bisakiddwa: Kirabira Fred