Obwakabaka bwa Buganda bulambise nti okukwata ku bavubuka okusitula ebitone ly’erimu ku makubo agagenda okuyambako abantu okuzuula ebitone n’Obuyiiya, wamu nÓkukuuma Ennono nÓbuwangwa.
Bwabadde asisinkanye bannakatemba okuva mu Sanyuka Films Uganda abagenda okutongoza firimu emanyiddwa nga Kimote, ekwata ku bukulu bwÓlubugo, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yebazizza bannakatemba ne bannabitone olw’okukyuusa endabika yaabwe, nebatandika okubikolamu ebikulu.
Katikkiro agumizza bannabitone ku nsimbi ezikyali entono ddala zebagya mu kuzannya emizannyo, naabasaba okukuuma Omutindo nÓbuyiiya mu byebakola , olwo bafunemu ebirungi bingi.
Mungeri eyenjawulo Katikkiro yebazizza abavubuka bannabitone mu ggwanga , abagaanye okulera Engalo nebasalawo okuzannya ebizimba eggwanga.
Akulira ebiweerezebwa ku mpewo ku CBS Abbey Mukiibi Nkaaga asabye banna Uganda okuwagira bannakatemba mu firimu eno nga 25,26 ne 27 April, 2025 ku Acacia mall e Kamwokya, bamanye ebikwata ku Lubugo ebituufu.
Bisakiddwa: Kato Denis