Ekibiina ekigatta abagoba ba bodaboda bonna mu ggwanga ki Boda boda Union kitongozza omutimbagano ogwabwe kwebagenda okuyita okutumbula omulimu gabwe okukyusa obulamu.
Omutimbagano ogutongozeddwa guyitibwa Union AP, gwebagenda okufuniranga ku ssimu zabwe ekika kya Sseereza.
Aba boda boda bagamba nti emitimbagano egibaddewo gibadde gibatwalako ssente nyingi bbo nebafuna ntoono, kwekuleeta omutimbagano ogwabwe, gwebagenda okweyambisa okutwala omulimu gabwe ku ddala eddala.
Bwabadde atongoza Union APP eno e Kansanga mu division ye Makindye mu Kampala, ssentebe wa bagoba ba boda boda mu ggwanga Mawejje Frank agambye nti bagala okukozesa omutimbagano guno okwongera ssente mu bitavvu bya ba boda boda byonna bazikozese okwekulakulanya.
Mu ngeri yeemu Mawejje agambye nti bagenda kukozesa ssente entoono zebanafuna mu Union APP okutumbula ebitone mu ba boda boda, kuba bangi balina ebitoone ebyenjawulo, kyoka teri abakwataako ku bikuza.
Asabye aba boda boda mu ggwanga lyonna okwetanira omutimbagano gwa APP guno kuba tegugenda kubaleka kyekimu .#