Ababaka abava mu Acholi abegattira mu kabondo kabwe aka Acholi Parliamentary Caucus bawanze eddusu ku minister w’ebigwa tebirize n’ebibamba Hilary Baroka Onek, okwesimbawo ku kifo kya sipiika.
Ensisinkano yababaka bano etudde mu offiisi ya ssaabaminisita, nebalonda Baroka Hilary Onek okuvuganya ku kifo kya sipiika, Catherine Lamwaka omubaka omukyala owa district ye Omoro Oulanya gyabadde ava,nomubaka omukyala owa district ye Kitgum Lilian Abel bbo beesimbe ku kifo ky’omumyuuka wa sipiika.
Omubaka wa Kilak South Gilbert Oulanya agambye nti ng’ababaka ba Acholi, basinzidiise ne ttiimu yababaka ekulembeddwamu ssentebbe wakabondo kano era omubaka wa Kilak North Anthony Akol, egende esisinkane president Museven mu makaage Entebbe, okumutegeeza ku bantu abao.
Ababaka bano okuva mu Acholi ssi basanyufu yadde, nengeri kampeyini zokuvuganya ku kifo kya sipiika gyezikwatiddwako, bagambye nti okufa kwa Oulanya Jacob, abamu ku bantu abavuganya ku kifo kino bagulabye ng’omuddido ekibaleetera ebibuuzo enkumo byebatanafuna ko kwanukulwa
Bagala president Museveni okulagira okulonda kwa sipiika kusooke kuyimirire, ssabalamuzi w’eggwanga agira akubiriza parliement okutuusa nga Jacob Oulanya aziikiddwa olwo kakuyege wokujjuza ekifo kye atandiike.
Mu ngeri y’emu bannaNRM abasoba mu munaana bebakaggyayo empapula okuvuganya ku bwa sipiika.
Kuliko amyuka sipiika Anita Among,amyuka ssaabawolereza wa gavumenti Jackson Kafuuzi ,omubaka wa Arua City Jackson Atima , Sarah Opendi omubaka omukyala owa Tororo, Felix Okot Ogong wa Dokolo south, Theodore Ssekikubo mubaka w’e Lwemiyaga, Jacob Oboth Oboth minister omubeezi ow’ebyokwerinda, Hamson Obua minister omubeezi ow’ebyemizannyo n’abalala.
Ku ludda oluvuganya government Ssemujju Nganda ne Asuman Basaalirwa bebaakesowolayo ku bwa sipiika.