Ambassador Olara Otunu ng’ali wamu n’olukiiko government ya Uganda lweyasaawo okumuwenjeza obuwagizi, ku kifo kya Ssabawandiisi w’ekibiina ky’amawanga amagatte ki United Nations boolekedde America mu kibuga New York, okuwenja abuwagizi okuva mu bakiise b’ekibiina.
Government ya Uganda yawanda eddusu ku munnaUPC Ambassador Olara Otunu okwesimbawo ku kifo kya Ssaabawandiisi w’ekibiina kyamawanga amagatte okudda mu bigere bya Antonio Guiterrez agenda okuwummula mu December 2026, oluvanyuma lwokuweereza mu kifo ekyo okumala emyaka 10.
Government ya Uganda yalonda eyaliko Ssaabaminister wa Uganda Dr.Ruhakana Rugunda okukulembera akakiiko akatembeeta n’okunoonyeza Ambassador Olara Otunu obuwangizi n’okumuguza ensi endala zimuwagire .
Omubaka wa Uganda mu kibiina ky’amawanga amagatte ambassador Adoniya Ayebare eyise ku kibanja kye ku X, naagamba nti Ambassador Olara nga 19 August, wakwogerako eri olukiiko olw’ekibiina ky’amawanga amagatte olwawamu, olumanyiddwanga UN General Assembly.
Enkeera nga 20 August, Ambassador Olara Otunu wakwogerako eri olukiiko lw’ekibiina kyamawanga amagatte ki UN Security Council, nga byonna bigendereddemu okubaguza manifeesito ye n’okubasaba obuwangizi bwabwe.
Ambassador Olara otunu olwokaano luno alulimu n’abantu abalala 6 okuva mu mawanga agenjawulo;Mackey Sall eyali President wa senegal, Carolyn Rodriguez Birkett munnansi wa Guyana, Rebecca Grynspan Mayufis munnansi wa Costa Rica ,Rafael Mariano Grossi munnansi wa Argentina
Abalala kuliko munnansi wa Ecuador Maria Fernanda Espinosa Garces ne Micelles Bachelet Jeria munnansi wa Chile
Ekisanja Kya Antonia Gutierrez nga Ssaabawandiisi w’ekibiina ky’amawanga amagatte kigwako nga 31 December,2026.
Nga 01 January 2027, abakiise b’ekibiina ky’amawanga amagatte bakukkira obukobokisi balonde ssabawandiisi wekibiina ekyo omuggya.#












