Obwakabaka bwa Buganda busabye abaweereza ku buli mutendera bakole ekisoboka okukwasizaako abantu ba Kabaka okusitula Omutindo gw’ebyo byebakola,n’Okussa mu nkola enteekateeka z’Obwakabaka zonna.
Bino bituukiddwako mu lusirika lw’abakiise b’olukiiko lwa Buganda olw’omwaka 2026, oluyindira ku Muteesa the first Royal University e Mengo Kakeeka nga 06 August.
Olusirika luno luggudwawo Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, era yebazizza abaweereza mu Bwakabaka olw’obukozi n’Okwagala ennyo okuweereza Beene, kyokka naasaba enkola y’Emirimu gyabwe yeyongereko Omutindo.
Katikkiro asabye abakiise mu Lukiiko lwa Buganda obuteerabira nti ebitiibwa byabwe tebitandikira ku mannya , wabula ku bikolwa byabwe.
Minister w’ebyettaka n’Amayumba mu Bwakabaka Owek David FK Mpanga ,yebazizza gavumenti ya wakati olwenkolagana ennungi Kati eriwo n’Obwakabaka, eyambyeko mu kutaakiriza Ettaka lya Buganda eryali lyatwalibwa.
Minister w’Ettaka n’enkulaakulana y’Ebibuga mu government eya wakati, Judith Nabakooba bwabadde asomesa abakiise ku nkozesa y’Ettaka ly’Abantu, asabye nti abalina Ettaka eribeera ligenda okuyitako project za government ng’enguudo, Amakolero n’ebirala, okukkiriza bateeseganye ne government enkulaakulana egende mu maaso.
Bisakiddwa: Kato Denis