Alipoota y’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibuuzo mu ggwanga ki UNEB eraze nti abasomesa abamu bakyalemeddwa okujjumbira n’okunnyikira mu nsomesa empya eya Competence Based Lower secondary Curriculum, balemedde ku nkadde gyebaali baamanyiira.
Alipoota eyakoleddwa omwaka ogwayita 2025, eraze nti wadde emyaka 5 jiyiseewo ng’ensomesa empya ereeteddwa, mukyalimu abasomesa abakyalemye okukyuka n’omutindo, nga kino kyekimu ku bikyalemesezza abayizi okuyita obulungi.
Alipoota eyatuumiddwa National Assessment in progress of Education, (NAPE), eraze nti abayizi mu kibiina ekya S.2, bongedde okukuguka mu byebasoma, okuva ensomesa empya lweyaleetebwa.
Alipoota eno eraga nti abayizi naddala mu masomo okuli okubala, Biology n’olungereza batandise okubikola obulungi nga kumpi abayizi ebitundu 50% tebali bubi bwogerageranya ne bwebaali.
Okubala abayizi bongedde okukola obulungi nga besigama ku Curriculum empya n’ebitundu 62%, Biology bali ku bitundu 46% okuva ku bitundu 23% mu kulondoola okwasembayo, okuwandiika oluzungu bali ku bitundu 81%, okulwogera bali ku bitundu 74% sso nga bakyakalubirizibwa okuluwuliriza okuva eri abalwogera obulungi nga wano bali ku bitundu 26%.
Abalenzi bakyakira ku bawala mu kubala n’amasomo ga science, sso nga abawala bakira ku by’oluzungu.
Alipoota eno bweti yali yasemba okukolebwa emyaka 10 ejiyise, eyekenneenya ensoma y’abayizi, nga eyasembayo yalagira government okwongera ku bizimbe abayizi webalina okusomera, okwongera ku basomesa, n’abasomesa okubeera nga bonna wakiri bali ku mutendera gw’obuyigirize ogwa Degree, nebirala era nebikolebwa.
Alipoota eno esabye government okwongera okuyambako abasomesa abatanakuguka mu nkola yebisomesebwa, okubafunira ebikozesebwa, okwongera omutindo gw’abasomesa mu masomero ga government naddala agomubyalo n’ebirala.
Dan Odongo, ssenkulu wa UNEB agambye nti baakufuba okutereeza ebyensomesa mu ggwanga.
Akola nga minister w’ebyenjigiriza n’emizanyo, Dr JC Muyingo agambye nti bakyalina ebyetago bingi era bakunoonya ensimbi okuteekesa mu nkola ebyogeddwako mu Alipoota.
Ssentebe wa Uneb, Prof Celestino Obua, mu bubaka bwatisse member ku lukiiko olufuzi olwa UNEB, Patrick Kaboyo, agambye era nga yoomu ku bakulira bannanyini masomero agoobwananyini, nti omutindo gwabasomesa gusaana okwongerako okulondoolwa okutuukana n’ebibasuubirwamu mu curriculum empya.
Bisakiddwa: Ddungu Davis










