Obwakabaka bwa Buganda buyisizza embalirira ya buwumbi bwa Uganda 409,315,856,147/= mu mwaka gwÉbyensimbi 2026/2027 etandise nga 06 Kasambula,2026.
Embalirira eno erinnye ebitundu 34% okugerageranya n’embalirira yÓmwaka gwébyensimbi ogukomekkerezeddwa 2025/2026, ebadde ya buwumbi bwa Uganda 305,502,820,947/=
Ennyingiza mu mbalirira yÓmwaka gwébyensimbi oguweddeko eyÓbuwumbi 305 yayiseemu ebitundu 4.8% bweyafunye Obuwumbi 320.58 okuva ku buwumbi 305 nÓbukadde 502 obwali bwaayisibwa.
Government ya wakati yasasulako Obwakabaka bwa Buganda ensimbi obuwumbi 38, nÓbukadde butaano ku buwumbi obusukka mu 200 Obwakabaka zebubanja.
Embalirira yÓmwakaa gwebyensimbi 2026/2027 egenda kutambulira ku mulamwa ogugamba nti “Situla Omutindo , linnyisa Omutindo mu bukugu mu mulamwa ogwÓkuzza Buganda ku Ntikko”
Bwabadde ayanjula embalirira eno mu lukiiko olutudde mu Bulange e Mengo, Omumyuuka owookubiri owa Katikkiro era nga ye muwanika wÓbwakabaka Owek Robert Wagwa Nsibirwa, ategeezezza nti embalirira yÓmwaka gwebyensimbi guno egenda kutunuulira nnyo Ebyobulamu, Ebyenjigiriza, Ebyobulimi nÓbulunzi ,Okusiga ensimbi nÓkusitula Ebitone.

Ensimbi ezigenda okuvujjirira Embalirira eno zigenda kusinga ku kuva mu Bannamikago, Ebisaawe, Ebibiina byÓbweegassi nÉnkulaakulanya yÉttaka mu Bwakabaka.
Embalirira yeemu egenda kwesigamizibwa nnyo ku kukozesa tekinologiya, okukozesa ebibalo mu kutekateeka , Okukozesa emitimbagano naddala mu kutereka ensimbi nga ezÓluwalo, Okunyweeza Obweerufu nÓkwongera amaanyi mu kubanja gavumenti ya wakati ensimbi zÓbwakabaka.
Owek Nsibirwa agambye nti waliwo enkyukakuuka ezizze mu nondoola yÉmirimu egikolebwa mu Bwakabaka, nga ekitundu ku kuggusa amangu amakatala gÓbwakabaka.

Ennyingiza esuubirwa mu 2026/2027
1. Bannamikago naddala okukulaakulaanya ebisaawe – 48,000,000,000/=
2.Okutandikawo amakolero – 20,000,000,000/=
3. Gavumenti eya wakati okusasulayo obuwumbi bwe tulina – 34,500,000,000/=
4.Ebibiina by’Obwegassi okweyongera – 88,594,583,434/=
5- Ebyenjigiriza n’abayizi mu masomero g’Obwakabaka – 28,085,154,535/=
6- Enteereeza y’enzirukanya y’ettaka – 36,600,000,000/=
Ensaasaanya esuubirwa
1- Ebyobulimi n’Obwegassi – 87,094,915,004/=
2- Okwekulaakulanya n’Okusiga ensimbi
92,373,229,000/=
3-Okuddukanya emirimu mu Nkuluze – 26,626,713,660/=
4 – Okutumbula Ebyenjigiriza –
28,242,272,412/=
5- Okutumbula Ebyobulamu –
6,111,000,000/=

Okwogera kwa Katikkiro mu Lukiiko
Mu kwogerako eri Olukiiko, Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga avumiridde obutagoberera mateeka obweyongera mu ggwanga, bwagambye nti bugenda ku ttattana eddembe Uganda lyerina, okukosa eby’obulambuzi n’okugoba ba musigansimbi.
Katikkiro awadde amagezi eri abakwatibwako nti abantu ababeera balina omusango ogubavunaanibwa, nti singa babeera bakwatiddwa batwalibwe mu budduukulu bwa police u kifo ky’okubasibira mu bifo ebitamanyiddwa.
Agambye nti eby’okukwata abantu nebatulugunyizibwa kittattana eddembe ly’obuntu.


Olukiiko luno lwetabiddwamu Abalangira nÁbambejja, ba minister ba Buganda abaliko naabo abaawummula, abakulembeze b’eddiini, ababaka mu lukiiko lweggwanga olukulu nga bakulembeddwamu akulira oludda oluvuganya government Joel Ssennyonyi, ba ssenkulu bÉbitongole byÓbwakabaka bwa Buganda, abantu ba bulijjo.












