Ababaka ba Parliament ab’ekibiina ki National Resistance Movement NRM balonze Fred Bangumya ne Stella Kiryowa, okukwatira ekibiina kino bendera ku bifo ebibiri ebya parliament ya East African Legislative Assembly.
Ababaka ba NRM babadde mu nsisinkano yabwe etudde ku wofiisi y’Obwapresident mu Kampala, gyrbabalondedde nebalangirirwa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu NRM, Dr. Tanga Odoi.
Ebifo ebyo ebibiri bibadde byasigala bikalu, oluvannyuma lw’ababaka abaali mu bifo bino okuli omubaka wa Buyaga West, Denis Namara ne James Kakooza, akiikirira abakadde mu Buganda okulondebwa mu parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12.
Abantu 35 bebaali bewsowolayo nga begwanyiza okulondebwa ku bifo bino.
Olukiiko lwa NRM olw’okuntikko olwa NRM Central Executive Committee, (CEC), luliko amanya lwegaasunsula nerugasindika eri akabondo ka babaka ba NRM aka NRM parliamentary Caucus, era kwebalonze Stella Kiryowa ne Fred Bangumya okujjuza ebifo ebya parliament ya EALA.
Mu kusooka banna kibiina ababadde beegwanyiza ebifo bino baweereddwa omukisa okusaba obululu n’okulaga byebagenda okukolera eggwanga ssinga balondebwa.
Parliament ya East African Legislative Assembly, (EALA), yeekola amateeka agaluηamya amawanga gannamukago ogwa East African Community, (EAC), n’okuyambako okukubaganya ebirowoozo ku byeetaga okugoberera mu mukago guno.
Bisakiddwa: Ddungu Davis











