Omwaka gw’ebyensimbi 2025/2026 ogwatandiika nga ennaku zomwezi 1 July,2025 gugwako mu kiro kya nga 30 June,2026, era eggwanga lweriyingira omwaka gw’ebyensimbi omuggya 2026/2027.
Mu mwaka gw’ebyensimbi omuggya ogutaandika nga 01 July,2026, government lwetandika okutambuza embalirira y’eggwanga ey’omwaka omuggya 2026/2027 eweza trillion 84 n’obuwumbi 341.
Okutandika ku Wednesday nga 1 July,2026 government egenda kutandika okuteekesa mu nkola emisolo emiggya egyayisibwa mu mbalirira eno.
Egimu ku misolo gino kuliko omusolo ku mafuta ogwa shillings e 200 ku buli liita, emisolo ku butto, sukaali, omwenge, Lime, cement, engoye enkadde oba emivumba.
Okukyusa obwannanyini bw’emmotoka, ettaka, okuwandiisa bodaboda nebirala, nabyo byayongerwako omusolo.
Abakozi abalina okusoloozebwako omusolo gwa Pay As You Earn okutandiika olunaku olwenkya, beebo abafuna omusaala ogusukka emitwalo 335,000.
Mu mwaka gw’ebyensimbi ogutandika ekiro kino ekikeesa nga 01 July,2026, abasomesa bamassomo ga arts naabo aba BTVET bagenda kwongezebwa omusaala ogw’obuwumbi obusoba mu 500 government bweyabateera mu mbalirira y’eggwanga ey’omwaka 2025/2026.
Wabula Okusinziira ku tteeka erifuga enkozesa y’ensimbi mu government erya Public Finance Management Act 2015, ensimbi zonna ezinaasangibwa ku account z’ebitongole bya government nga tezikozeseddwa ku saawa mukaaga ezekiro kino, ministry y’ebyesimbi yakuzisika ziddeyo mu ggwanika ly’eggwanga, okugyako e’ebitongole bokka ebyo, ebyasabye nebifuna olukusa okuva eri omuteesiteesi omukulu mu ministry y’ebyensimbi Ramathan Goobi okusigaza ensimbi ezo okumaliriza emirimu egibadde gigenda mu maaso.










