Police ya Uganda ekutte abantu 2 abateeberezebwa okumenya banka ya Uganda enkulu mu Kampala, nebabba laptop 7.
Obunyazi buno bugambibwa okuba nga bwaliwo mu kiro ku Monday nga 04 May,2026, nga kiteeberezebwa nti abanyazi baayitira mu mulyango ogutunudde mu kibangirizi kya Constitutional Square mu Kampala.
Abakwatiddwa mu bunyazi buno ye Kuule Bowazi Micheal omutuuze w’e Wabigalo mu Kampala ne Kabuye Ramathan amanyiddwa nga Rama omutuuze we Nsambya zone C.
Omwogezi wa police mu ggwanga Rusoke Kituuma agambye nti abakwate batwaliddwa mu kadduukulu ka police ku CPS nga police bwegenda mu maaso n’okunoonyereza ku balala abaali mu mupango era ng’esobodde n’okununula laptop 2, ku laptop 7 ezigambibwa okuba nga zezabbibwa nga ziriko ebintu bya Bank eby’omuwendo.
Kinajukirwa nti police yakola n’e kikwekweto ku bizimbe ebimu ku Kampala okwali Mutaasa Kaffeero,Kalungi Plaza ne birala era laptop eziweerako nabantu baakwatibwa, nga kigambibwa nti kyakolebwa olw’obunyazi obwali bukoleddwa ku bank enkulu ey’eggwanga.#











