Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza omuyungagano (Link) ogugenda okweyambisibwa banna Uganda okusonderako ensimbi z’okuzimba ekifo awanaakyusizibwanga obusomyo mu balwadde ba Nnalubiri.
Enteekateeka eno ewomeddwamu omutwe Bank y’ebyobusuubuzi ey’eggwanga; Pearl Bank nga bakolagana ne Rotary Club of Kampala Springs wamu ne Joint Clinical Research Centre.
Obukadde bwa Dollar za America butaano n’omusobyo bwebwetagibwa mu nteekateeka eno, nga woosomera bino baakafunako akakadde kamu n’emitwalo ataano.
Ekifo ekino kizimbibwa Lubowa ku kitebe kya Joint Clinical Research Centre.
Bw’abadde atongoza omuyungagano guno mu Bulange e Mengo, Kamalabyonna Charles Peter Mayiga agambye nti enteekateeka eno egwa bulungi mu buwuufu bwa Ssaabasajja Kabaka, obwokulwanyisa obulwadde bwa Nnalubiri.
Okuva mu mwaka 2017 okutuuka 2020 Omutanda yasiima ensimbi ezaavanga mu misinde gy’amazaalibwa ge zaassibwa mu kaweefube w’okukebera n’okujjanjaba abalwadde ba Nnalubiri.
Katikkiro bwatyo akoowodde banna Uganda bonna okuwagira enteekateeka y’okuzimba ekifo webakyusiza obusomyo bw’abalwadde ba Nnalubiri, kitaase ku balwadde ababadde bakozesa ensimbi enkumu okugenda ebweru w’eggwanga okufuna obujjanjabi buno n’abandi nebafa olw’okubulwa obusobozi obubatwala ebweru.
District Governor owa Rotary Club 9213 Geoffrey Martin Kitakule asabye Katikkiro ayongeremu eddoboozi ku nsonga eno lituuke ku bantu bonna era bagiwagire, nti kubanga bangi eddoboozi lye baliwulira era nebalikkiririzaamu.
Ssenkulu wa Joint Clinical Research Centre Dr. Cissy Mutuluuza agambye nti obulwadde bwa Nnalubiri bukyeraliikirza nnyo mu Uganda, kubanga bukwata ekifo kyakuna okubeera n’omuwendo gw’abalwadde abangi mu mawanga agetoolodde eddungu Sahara.
Dr. Cissy Mutuluuza agambye nti balina essuubi nti ssinga ekifo kino kiggwa okuzimbibwa kyakuyamba okuzza essuubi mu balwadde ba Nnalubiri bawone, era obulamu bwabwe budde buggya, n’asaba ab’omwoyo omulungi okubadduukirira.
Ssenkulu wa Pearl Bank Julius Kakeeto agambye nti olw’obulungi n’obwetaavu bw’enteekateeka eno, Pearl Bank weeri nnyo okuyambako n’okwanguyizaako abantu okusonda ensimbi nga tebalina kutya kwonna.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K












