Akakiiko keby`okulonda mu Uganda kakasizza eggwanga nga bwerigenda okubeera n`okulonda okwamazima n`obwenkanya, olwa technologiya ow`omulembe ateereddwa mu buuma obugenda okweyambisibwa mu kulonda, obwa Electronic Verification Machine.
Obuuma emitwalo 49,000 obubadde bubulayo kwobwo obugenda okweyambisibwa mu kulonda kw`omwaka ogujja 2021, butuusiddwa mu Uganda, bugattiddwa mu buuma obwasooka okuleetebwa obuwera emitwalo 60,000.
Ssentebe w’akakiiko keby`okulonda mu ggwanga Omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama bwabadde akwasibwa obuuma buno, ategezezza nti bugenda kuyamba Uganda okuba nakalulu akamazima n`Obwenkanya.
Byabakama Agamba nti olwa technologiya atereddwa mu buuma bunno, tabugenda kukkiriza kibba mu kalulu.
Aganbye nti obuuma tebukkiriza muntu kukozesa kinkumu kye emirindi egisoba mu gumu.
Singa akuuna kabeera kagaanye okusoma ekinkimu ky’omuntu, nga bamukuba ekifaanyi kyebayingizaamu mu kuuma nekasoma omuntu oyo abeera yawandiisibwa ng’omulonzi olwo nalyoka akwasibwa akakonge k’okulonda akaliko abesimbyewo.
Byabakama era ategeezezza nga bwebatandise okutendeka abantu abagenda okukozesa obuuma buno, basobole okukola omulimu omuyonjo.
Ebyo nga bikyali bityo, akakiiko keby`obulonda era kavumiridde ebikolwa ebyeffujju ebitandise okulabikira mu kunoonya akalulu kaabesimbyewo ku ntebe ya president wa Uganda,era nekasaba abakulembeddemu okukola efujjo lino okweddako.
Omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama asaasidde family ya Misaki Okello eyattiddwa e Iganga, police bweyabadde egumbulula abawagizi ba NUP abaabadde bava ku lukuηaana lwa Robert Kyagulanyi Ssentamu abakwatidde bendera.
Mu kiwandiiko police kyeyafulumizza, yategeezezza nti waliwo abawagizi ba NUP abaasosonkerezza police nga bagikasukira amayinja.
Omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama, era asabye bannabyabufuzi okwewala ebikolwa ebyefujjo wakati nga banonya akakulu.
Mu mbeera yeemu Byabakama agugumbudde nabamu Ku bakuuma dembe abakola omulimu gwabwe mu ngeri ey’ekiboggwe, eviirako okulinnyirira eddembe ly’obuntu naddala mu kiseera kino eky’okuwenja akalulu.
Bisakiddwa: Musisi John












