Omuyizi Amanya John Baptist myaka 7 abadde muyizi ku ssomero lya St James Biina Primary school Kirombe Butaabika mu Kampala, agudde mu mwala n’afiiramu.
Kigambibwa nti yagudde mwala ogwabaddemu gujjudde amazzi ne gamutta, era police omulambo egunyuludde ne gutwalibwa mu ddwaliro okwekebeggyebwa.
Omwana omulala ye Mukisa Favour ow’e Nansana naye agudde mu mwala nafiiramu.
Maama w’omwana nga ye Nabukenya Halimah ategeezezza nti omwana we yamusabye agende azanyeko ne banne, wabula obudde webwawungedde nga takomawo, bweyagenze okumunona beyabadde azannya nabo kwekumutegeeza nga bweyagudde mu mwala amazzi ne gamutwala.#