• Latest
  • Trending
  • All
Police egudde mu lukwe lwa bbomu ebadde egenda okukubwa ku kanisa ya Pastor Kayanja

Police egudde mu lukwe lwa bbomu ebadde egenda okukubwa ku kanisa ya Pastor Kayanja

September 3, 2023

Buli district ya Uganda yakussibwamu kooti enkulu okukendeeza ku misango egyetuuma mu kooti – Minister Nobert Mao

March 6, 2026

MTN Momo edduukiridde abakyala ba KCCA abasiibi ebawadde ettu lya Iddi – Lord Mayor Lukwago yennyamidde olw’omusaala omutono oguweebwa abayonja ekibuga

March 6, 2026

Donald Trump azzeemu okulabula Iran nti bwetawanika – eyolekedde okufuuka amatoongo

March 6, 2026
Abakyala ab’enzikiriza ezenjawulo bakuηaanidde e Namungoona mu kusaba okwenjawulo okw’okukuza olunaku lw’abakyala olw’ensi yonna

Abakyala ab’enzikiriza ezenjawulo bakuηaanidde e Namungoona mu kusaba okwenjawulo okw’okukuza olunaku lw’abakyala olw’ensi yonna

March 6, 2026
President Museveni awabudde ku mbeera y’okusesebbula Iran nti yandireetera ensi ebizibu bingi – abadde asiibulula basiraamu

President Museveni awabudde ku mbeera y’okusesebbula Iran nti yandireetera ensi ebizibu bingi – abadde asiibulula basiraamu

March 5, 2026
Maj. General Apollo Kasiita Goowa ne Brig. General Johnson Namanya ababadde bakulira ekitongole ekikola ku bantu abafuluma n’okuyingira eggwanga – bawaddeyo office ezo mu butongole

Maj. General Apollo Kasiita Goowa ne Brig. General Johnson Namanya ababadde bakulira ekitongole ekikola ku bantu abafuluma n’okuyingira eggwanga – bawaddeyo office ezo mu butongole

March 5, 2026
Government etandise enteekateeka z’okulayiza president Museveni ku kisanja ekya 2026-2031

Government etandise enteekateeka z’okulayiza president Museveni ku kisanja ekya 2026-2031

March 5, 2026
Government ekyusizza ebitundu ewagenda okuyita oluguudo lwa Busega-Mpigi Express – ensimbi ez’okuliyirira bannyini bizimbe tezirina

Government ekyusizza ebitundu ewagenda okuyita oluguudo lwa Busega-Mpigi Express – ensimbi ez’okuliyirira bannyini bizimbe tezirina

March 4, 2026
Ssaabasajja Kabaka aweerezza obubaka obusiima olw’emirimu egikoleddwa omugenzi P.K Ssengendo – abadde muwulize

Ssaabasajja Kabaka aweerezza obubaka obusiima olw’emirimu egikoleddwa omugenzi P.K Ssengendo – abadde muwulize

March 4, 2026
Obwakabaka bwa Buganda luzimbye oluzzi lwa Nnayikondo e Nnamaliiri – bayambiddwako aba Wells of Life

Obwakabaka bwa Buganda luzimbye oluzzi lwa Nnayikondo e Nnamaliiri – bayambiddwako aba Wells of Life

March 4, 2026
SC Villa Jogoo Ssalongo erangiridde akakiiko akagenda okulondesa obukulembeze obuggya – avuganya ku bwa president bwa Club wakusasula obukadde bwa shs 100 tezimuddizibwa

SC Villa Jogoo Ssalongo erangiridde akakiiko akagenda okulondesa obukulembeze obuggya – avuganya ku bwa president bwa Club wakusasula obukadde bwa shs 100 tezimuddizibwa

March 4, 2026
Bannyini bibanda bya mmotoka abazitundira ku nguudo balagiddwa okuziggyako bunnambiro – ekikwekweto kitandise

Bannyini bibanda bya mmotoka abazitundira ku nguudo balagiddwa okuziggyako bunnambiro – ekikwekweto kitandise

March 3, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Police egudde mu lukwe lwa bbomu ebadde egenda okukubwa ku kanisa ya Pastor Kayanja

by Namubiru Juliet
September 3, 2023
in Amawulire
0 0
0
Police egudde mu lukwe lwa bbomu ebadde egenda okukubwa ku kanisa ya Pastor Kayanja
0
SHARES
105
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Wabaddewo obunkenke n’akasattiro ku kanisa y’omusumba Robert Kayanja eya Lubaga Miracle center mu Lubaga, wakati ng’abakkiriza bali mu kusaba, ab’eby’okwerinda bwebazinzeeko ekifo kino, okukwata agambibwa okuba omutujju abadde ateekateeka okukuba bbomu mu kifo kino.

Kigambibwa nti omutujju azze n’ekintu ekyefananyiriza fulasika etereka emmere, wabula nga watuukidde ku kanisa eno ebitongole ebikesi bibadde bimulondoola.

Okusinziira ku beebyokwerinda bbomu eno ebadde nkolerere nga bajijingiridde mu misumaali, bbaatule za pikipiki, charger n’essimu.

Omwogezi wa police mu Kampala neemiriraano, Patrick Onyango, akakasizza nti omutujju ono, akwatidwa era ne bbomu ab’ebyolwerinda bajitulisizza nebajisanyaawi.

Onyango agambye nti omutujju ategerekese nti ye, Kintu Ibrahim ow’emyaka 28, kyokka nti abategeezezza nti wakyaliyo banne abalala 3, abateeberezebwa okuba mu mupango guno gwegumu, era nti nabo balagiddwa okubaako bbomu endala zebatega.

Onyango agamba nti wakyaliwo ne bbomu endala 3 ezikyayiggibwa nga ziri mu bitundu ebyenjawulo, n’alabula abantu abakungaanira mu bifo by’olukale ebirimu abantu abangi okubeera abegendereza.

Omusumba Kayanja, ategezezza endiga ezibadde mu kkanisa nti basanidde okwebaza ennyo Katonda abakuumye obutattibwa bbomu nti kuba ye ajrabyeko n’amaaso ge.

Pastor Kayanja ng’annyonyola ebibaddewo ku bbomu ebadde egenda okutulisizibwa ku kanisa ye.

Kayanja agambye nti embeera bagikutte mu kimpowooze okwewala abantu okubuna emiwabo, ekibadde kiyinza okuvaamu ebizibu ebirala.

Bino bijjidde mkiseera nga waliwo obubaka bungi obuzze bulabula, Uganda nti enaatera okutuusibwako obulabe okuva mu bakyamu.

Obulumbaganyi obwenjawulo obuzze butuusibwa ku Uganda, kigambibwa nti bubadde bukolebwa batujju aba ADF, akabinja akaabayeekera akasinziirira mu bitundu bye DRC e Congo.

Obulumbaganyi obukyasembyeyo okukolebwa ku Uganda, bwaliwo mu mwaka gwa 2021 bwebaakuba bbomu 2 mu Kampala ku CPS ne ku kizimbe kya Jubilee Insurance ku Parliamentary Avenue omwafiira abantu abawera omwali naabasirikale ba police.

Bisakiddwa: Ddungu Davis

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Buli district ya Uganda yakussibwamu kooti enkulu okukendeeza ku misango egyetuuma mu kooti – Minister Nobert Mao
  • MTN Momo edduukiridde abakyala ba KCCA abasiibi ebawadde ettu lya Iddi – Lord Mayor Lukwago yennyamidde olw’omusaala omutono oguweebwa abayonja ekibuga
  • Donald Trump azzeemu okulabula Iran nti bwetawanika – eyolekedde okufuuka amatoongo
  • Abakyala ab’enzikiriza ezenjawulo bakuηaanidde e Namungoona mu kusaba okwenjawulo okw’okukuza olunaku lw’abakyala olw’ensi yonna
  • President Museveni awabudde ku mbeera y’okusesebbula Iran nti yandireetera ensi ebizibu bingi – abadde asiibulula basiraamu

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist