• Latest
  • Trending
  • All
Ssaabasajja Kabaka aweerezza obubaka obusaasira olw’okufa kwa Kato Lubwama – aziikiddwa mu ssaza Mawokota

Ssaabasajja Kabaka aweerezza obubaka obusaasira olw’okufa kwa Kato Lubwama – aziikiddwa mu ssaza Mawokota

June 15, 2023
Munnamateeka Erias Lukwago atwaliddwa mu ddwaliro e Mulago – okuva mu kkomera e Luzira ng’avunaanibwa emisango gy’okusirikira amawulire g’okulya munsi olukwe

Munnamateeka Erias Lukwago atwaliddwa mu ddwaliro e Mulago – okuva mu kkomera e Luzira ng’avunaanibwa emisango gy’okusirikira amawulire g’okulya munsi olukwe

June 25, 2026
Police e Bukomansimbi ekutte abantu 4 abateeberezebwa okwekobaana nebatema Nnakawere nebamubbako omwana

Police e Bukomansimbi ekutte abantu 4 abateeberezebwa okwekobaana nebatema Nnakawere nebamubbako omwana

June 26, 2026
Ebyava mu kukebera endagaluse z’omuyimbi omugenzi Paul Job Kafeero n’abaana be byakulangirirwa nga 25 June,2026

Kooti eyongedde okunyweza ebivudde mu kukebera abaana b’omugenzi Paul Kafeero – abaana 4 bokka bebakakasiddwa nti beyazaala

June 25, 2026
Abaana 4 bokka bebakakasiddwa okuyita mu magezi ga science nti be baana b’omuyimbi omugenzi Paul Job Kafeero – abaana 25 bebaakebereddwa endagaluse

Abaana 4 bokka bebakakasiddwa okuyita mu magezi ga science nti be baana b’omuyimbi omugenzi Paul Job Kafeero – abaana 25 bebaakebereddwa endagaluse

June 25, 2026
President Museveni alonze Dr.J.C Muyingo okugira ng’akolanga minister omujjuvu owa ministry y’ebyenjigiriza

President Museveni alonze Dr.J.C Muyingo okugira ng’akolanga minister omujjuvu owa ministry y’ebyenjigiriza

June 25, 2026
Empaka z’Amaato mu Buganda eza 2026 zitaandika  27 June e Nakiwogo Ntebbe

Empaka z’Amaato mu Buganda eza 2026 zitaandika 27 June e Nakiwogo Ntebbe

June 25, 2026

NRM yetegekera kamyufu k’abanaavuganya ku bifo bya parliament ya East Africa

June 25, 2026
Idah Nabayiga owa NRM awangudde akalulu k’okuddamu okulonda omubaka omukyala owe Kalangala

Idah Nabayiga owa NRM awangudde akalulu k’okuddamu okulonda omubaka omukyala owe Kalangala

June 25, 2026
Ssaabasajja Kabaka Mutebi II asisinkanye abataka abakulu ab’Obusolya nga 24 June,2026 – abalambise bakuume obumu n’okuwuliziganya okwaηηanga ebisomooza Obwakabaka

Ssaabasajja Kabaka Mutebi II asisinkanye abataka abakulu ab’Obusolya nga 24 June,2026 – abalambise bakuume obumu n’okuwuliziganya okwaηηanga ebisomooza Obwakabaka

June 24, 2026
NUP ewandiise ebbaluwa esaba mu butongole okwegatta ku IPOD – wakyaliwo obukwakkulizo

NUP ewandiise ebbaluwa esaba mu butongole okwegatta ku IPOD – wakyaliwo obukwakkulizo

June 24, 2026
Uganda ewangudde ekikopo kya Cecafa U17 Women’s Championship 2026

Uganda ewangudde ekikopo kya Cecafa U17 Women’s Championship 2026

June 23, 2026
Buganda Royal Institute of Business and Technical Institute efunye Boodi empya – n’okutongoza Nnamutaayiika wa 2026-2031 wa buwumbi bwa shs 51

Buganda Royal Institute of Business and Technical Institute efunye Boodi empya – n’okutongoza Nnamutaayiika wa 2026-2031 wa buwumbi bwa shs 51

June 23, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Ssaabasajja Kabaka aweerezza obubaka obusaasira olw’okufa kwa Kato Lubwama – aziikiddwa mu ssaza Mawokota

by Namubiru Juliet
June 15, 2023
in Amawulire
0 0
0
Ssaabasajja Kabaka aweerezza obubaka obusaasira olw’okufa kwa Kato Lubwama – aziikiddwa mu ssaza Mawokota
0
SHARES
193
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Munnabitone Paul Kato Lubwama aziikiddwa nnamungi w’omuntu ku kyalo Busese Nkozi mu ssaza Mawokota mu district ye Mpigi.

Kato Lubwama aziikiddwa oluvannyuma lw’ennaku 7 bukyanga ava mu bulamu bwansi, nga bweyaleka alaamye.

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II aweerezza obubaka obusaasira, obumusomeddwa omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda Owek.Hajji Twaha Kawaase Kigongo.

Omutanda yebazizza Kato Lubwama olw’okusitula omutindo gwa katemba mu ggwanga.


Olukiiko olufuzi olwa Radio ya Cbs lutenderezza  omugenzi Kato Lubwama olw’obuyiiya bweyalolesa bweyali akyaweerereza  ku Radio eno, obwayamba okusitula omutindo gwa radio.

Mungeri yemu Ssenkulu wa Cbs mu bubaka bwe obumusomeddwa omukwanaganya wa radio n’abantu abalala Godfrey Male Busuulwa agambye nti  Kato  Lubwama abadde ayagala nnyo   Obwakabaka ne kabakawe

Kato Lubwama abadde munnakatemba era munnabyabufuzi eyakiikirirako Lubaga South mu Parliament ey’ekkumi (2016 -2021).

Okuziika kwe kwetabiddwako bannabyabufuzi okuva mu bibiina ebyenjawulo, bonna bamwogeddeko ng’omuntu alese omukululo ogulabwako.

Minister w’ebyentambula n’enguudo Gen.Edward Katumba Wamala nga y’akiikiridde President Museveni ajukiza bana Uganda okukuuma emirembe mu ggwanga.

Akulira oludda oluwabula government mu parliament Mathias Mpuuga Nsamba asabye banna Uganda okulekeerawo okukaabirira government okubayamba, nti wabula babeeko byebeekolera okukyusa obulamu.

Akulira ekibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulanyi ssentamu asabye abali mu mulimu gw’okuyimba ne katemba okutwala eky’okulabirako ekya Kato Lubwama okukyusa ekifaananyi ky’egwanga.

Lord Meeya wa Kampala Salongo Elias Lukwago ayambalidde abakulembeze abajudde omulugube nebatuuka n’okwezibiika ensimbi  z’omuwi w’omusolo.

Kulwa Family y’omugenzi  Kato Lubwama, Minister omubeezi avunanyizibwa ku matendekero agawaggulu mu government eya wakati John Crysestom Muyingo  asabye abazadde okufaayo okuweerera abaana.

Atenderezza Kato olw’okukozesa obulungi ekitone kye ekya Katemba, okusomesa n’okukyusa obulamu bw’abantu.

Kulwabayimbi nebanakatemba Omumbejja Mariam  Ndagire yabazizza omugenzi Kato Lubwaama olw’okusitula ebitone ,era asabye banabitone okubikozesa okwekulakulanya.

Sylivia Namutebi Maama Fiina ng’aganzika ekimuli ku ssanduuko omugalamiziddwa omubiri gwa Kato Lubwama

Kato Lubwama agalamiziddwa munjuye ey’olubeerera ku ssaawa emu ey’akawungeezi, nga kwetabyeko ebikumi n’ebikumi by’abakungubazi, omuli  ababaka ba Parliament , ba minister okuva mu government eyawakati ne Mengo , abayimbi nebanakatemba , bannamulire n’abantu abenjawulo.

Ekire ky’enkuba ekifudembye emisana kibagwereddeko awatali kuseguka.

Okusabira omugenzi kukulembeddwamu Pastor Alosius Bugingo.

Pastor Alosius Bugingo ng’asabira Nnamwandu

Kato Lubwama yazaalibwa nga 16 August,1970, naafa nga 07 June,2023.#

Bisakiddwa: Ssebuliba Julius

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Munnamateeka Erias Lukwago atwaliddwa mu ddwaliro e Mulago – okuva mu kkomera e Luzira ng’avunaanibwa emisango gy’okusirikira amawulire g’okulya munsi olukwe
  • Police e Bukomansimbi ekutte abantu 4 abateeberezebwa okwekobaana nebatema Nnakawere nebamubbako omwana
  • Kooti eyongedde okunyweza ebivudde mu kukebera abaana b’omugenzi Paul Kafeero – abaana 4 bokka bebakakasiddwa nti beyazaala
  • Abaana 4 bokka bebakakasiddwa okuyita mu magezi ga science nti be baana b’omuyimbi omugenzi Paul Job Kafeero – abaana 25 bebaakebereddwa endagaluse
  • President Museveni alonze Dr.J.C Muyingo okugira ng’akolanga minister omujjuvu owa ministry y’ebyenjigiriza

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist