Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asisinkanye abataka abakulu ab’Obusolya, abakubirizza okusigala obumu n’okuwuliziganya, okusobola okwaηaanga okusomooza okuliwo omuli ekibba ttaka,obwavu, endwadde ebbula ly’emirimu n’ebirala.
Ensisinkano eno ebadde mu Lubiri e Mengo nga 24 June,2026.

Ssebuufubwango Sseggwanga Musota, agambye nti agambye nti mu kiseera kino okutwalira amateeka mu ngalo, n’obutagoberera mateeka mu nsonga ez’enjawulo kusaawo okutya mu bantu, obutali butebenkevu n’okulinnyirira eddembe ly’obuntu, naasaba bonna abakwatibwako okulaba nga kikomezebwa bunnambiro.
Kalemakansiingyo era asaasidde ebazzukulu ababuliddwako (abafiiriddwako) ba Jajjabwe.
Maaso Mooji ayogedde ku miramwa egyenjawulo, era naakubiriza abataka okugyefumiitirizaako.

Abataka
-Okuva edda abataka babadde mpagi nnene mu kunyweza ennono za buganda.
-Ebika gwe musiingi gwa Buganda.
-Abataka n’abazzukulu gwe mutima gwa Buganda.
-Tujjukira omulimu ogwakolebwa abataka mu kulwanirira n’okuzaawo obuganda era tubeebaza.
-Tulina okukubiriza abataka okwongera okuziimba n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.
-Okukuuma n’okunyweza ebika.
-Okumanyisa abazzukulu ebika byabwe
-Okunnyonyola abazzukulu obukulu bw’ebika byabwe.
-Okubakubiriza Okukuuma ettaka n’obutaka bwonna

Abavubuka
Omuteregga Sseggwanga Musota ajjukizza Abataka Ab’obusolya okuyigiriza abavubuka okukola emirimu n’okukuuma ebyabwe ng’ettaka, nti kubanga Obuganda obwomumaaso buyimiridde kubbo
Okuyigiriza n’okwagazisa abazzukulu empisa, ennono, ebyafaayo n’olulumi lwaffe.
“Kimpa essanyu liingi nnyo okulaba ng’abavubuka ba buganda bettanira era bawagira nnyo obwakabaka.
Tubalinamu essuubi ddene, nga bwemumanyi mu kiseera kino tufunye ebintu bingi ebisomooza Obuganda. Era tusaanye okwekengera bino, omuli ekibba ttaka, obwavu, endwadde n’ebbula ly’emirimu” – Ssaabasajja Kabaka Mutebi II
Okukolera awamu
Empologoma ya Buganda akikkaatirizza nti okusobola okwaηηanga ebisomooza ebiriwo abataka n’abantu be tusaanidde okutambulira awamu, era bwewabaawo ensonga tusaanye okuwuliziganya n’okukolera awamu, eno yengeri yokka okusobola okukuuma obumu n’amaanyi gaffe.
Enfuga egoberera amateeka
“Mu kiseera kino tulina ensonga enkulu ennyo gyetulina okulowoozaako, yeyokutwalira amateeka mu ngalo oba obutagoberera mateeka; kintu kyabulabe nnyo. Tusaasira nnyo abo bonna abatyobooddwa mu ngeri eno” – Kabaka
“Tusaba bekikwatako okulaba ng’ensi yaffe efugibwa ku nkola essa ekitiibwa mu bantu. Kissa ekitiibwa mu ddembe lyabwe ne mu amateeka.Eyo ye ngeri yokka gyetusobola okuba n’emirembe n’obutebenkevu mu nsi yaffe” – Kabaka Mutebi II
Omutanda asabye abantu be okukolera awamu n’okuwagira n’amaanyi emirimu gy’obwakabaka.












