Munnabitone Paul Kato Lubwama aziikiddwa nnamungi w’omuntu ku kyalo Busese Nkozi mu ssaza Mawokota mu district ye Mpigi.
Kato Lubwama aziikiddwa oluvannyuma lw’ennaku 7 bukyanga ava mu bulamu bwansi, nga bweyaleka alaamye.
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II aweerezza obubaka obusaasira, obumusomeddwa omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda Owek.Hajji Twaha Kawaase Kigongo.
Omutanda yebazizza Kato Lubwama olw’okusitula omutindo gwa katemba mu ggwanga.
Olukiiko olufuzi olwa Radio ya Cbs lutenderezza omugenzi Kato Lubwama olw’obuyiiya bweyalolesa bweyali akyaweerereza ku Radio eno, obwayamba okusitula omutindo gwa radio.
Mungeri yemu Ssenkulu wa Cbs mu bubaka bwe obumusomeddwa omukwanaganya wa radio n’abantu abalala Godfrey Male Busuulwa agambye nti Kato Lubwama abadde ayagala nnyo Obwakabaka ne kabakawe
Kato Lubwama abadde munnakatemba era munnabyabufuzi eyakiikirirako Lubaga South mu Parliament ey’ekkumi (2016 -2021).
Okuziika kwe kwetabiddwako bannabyabufuzi okuva mu bibiina ebyenjawulo, bonna bamwogeddeko ng’omuntu alese omukululo ogulabwako.
Minister w’ebyentambula n’enguudo Gen.Edward Katumba Wamala nga y’akiikiridde President Museveni ajukiza bana Uganda okukuuma emirembe mu ggwanga.
Akulira oludda oluwabula government mu parliament Mathias Mpuuga Nsamba asabye banna Uganda okulekeerawo okukaabirira government okubayamba, nti wabula babeeko byebeekolera okukyusa obulamu.
Akulira ekibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulanyi ssentamu asabye abali mu mulimu gw’okuyimba ne katemba okutwala eky’okulabirako ekya Kato Lubwama okukyusa ekifaananyi ky’egwanga.
Lord Meeya wa Kampala Salongo Elias Lukwago ayambalidde abakulembeze abajudde omulugube nebatuuka n’okwezibiika ensimbi z’omuwi w’omusolo.
Kulwa Family y’omugenzi Kato Lubwama, Minister omubeezi avunanyizibwa ku matendekero agawaggulu mu government eya wakati John Crysestom Muyingo asabye abazadde okufaayo okuweerera abaana.
Atenderezza Kato olw’okukozesa obulungi ekitone kye ekya Katemba, okusomesa n’okukyusa obulamu bw’abantu.
Kulwabayimbi nebanakatemba Omumbejja Mariam Ndagire yabazizza omugenzi Kato Lubwaama olw’okusitula ebitone ,era asabye banabitone okubikozesa okwekulakulanya.

Kato Lubwama agalamiziddwa munjuye ey’olubeerera ku ssaawa emu ey’akawungeezi, nga kwetabyeko ebikumi n’ebikumi by’abakungubazi, omuli ababaka ba Parliament , ba minister okuva mu government eyawakati ne Mengo , abayimbi nebanakatemba , bannamulire n’abantu abenjawulo.
Ekire ky’enkuba ekifudembye emisana kibagwereddeko awatali kuseguka.
Okusabira omugenzi kukulembeddwamu Pastor Alosius Bugingo.

Kato Lubwama yazaalibwa nga 16 August,1970, naafa nga 07 June,2023.#
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius