• Latest
  • Trending
  • All
Obwakabaka bwa Buganda butongozza wiiki y’obutonde bwensi – essira lyongeddwa kukusimba emiti

Obwakabaka bwa Buganda butongozza wiiki y’obutonde bwensi – essira lyongeddwa kukusimba emiti

May 26, 2022
Ababaka ba parliament 7 besozze NUP  nga wabulayo mbale okutuuka ku kalulu ka 2026

Ababaka ba parliament 7 besozze NUP nga wabulayo mbale okutuuka ku kalulu ka 2026

May 21, 2025
Aba NRM abaataataganya okulonda kwe Ssembabule kooti ebayimbudde

Aba NRM abaataataganya okulonda kwe Ssembabule kooti ebayimbudde

May 21, 2025
Omulamuzi Simon Byabakama ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ayagala abasirikale abatabangula okulonda bakangavvulwe olw’okugotaanya ebyenfuna by’eggwanga

Omulamuzi Simon Byabakama ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ayagala abasirikale abatabangula okulonda bakangavvulwe olw’okugotaanya ebyenfuna by’eggwanga

May 21, 2025
Busiro CBS Pewosa Sacco etuuzizza Ttabamiruka wa 2024 – Omumbejja Aisha Nakalema Kabejja alondeddwa nga ssentebe omuggya

Busiro CBS Pewosa Sacco etuuzizza Ttabamiruka wa 2024 – Omumbejja Aisha Nakalema Kabejja alondeddwa nga ssentebe omuggya

May 21, 2025
Enkalu zeyongedde mu musango oguvunaanibwa Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya – baziddwayo ku alimanda

Enkalu zeyongedde mu musango oguvunaanibwa Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya – baziddwayo ku alimanda

May 21, 2025
Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo lw’e Mityana – emmotoka zitomereganidde e Bujuuko

Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde e Wantoni – abalala 9 bali mu mbeera mbi

May 21, 2025
Parliament eyisizza ennoongosereza mu bbago ly’etteeka erirambika emirimu gy’amagye g’eggwanga aga UPDF erya 2025- ab’oludda oluvuganya tebabaddeewo

Parliament eyisizza ennoongosereza mu bbago ly’etteeka erirambika emirimu gy’amagye g’eggwanga aga UPDF erya 2025- ab’oludda oluvuganya tebabaddeewo

May 20, 2025
Ssaabasajja Kabaka asiimye ow’emyaka 5 eyamuweereza obubaka bw’amazaalibwa ge ag’emyaka 70 – amuweerezza ebbaluwa emusiima

Ssaabasajja Kabaka asiimye ow’emyaka 5 eyamuweereza obubaka bw’amazaalibwa ge ag’emyaka 70 – amuweerezza ebbaluwa emusiima

May 20, 2025
Buganda Bumu North American Convention 2025 – Katikkiro Mayiga wakubalambika ebifa embuga

Buganda Bumu North American Convention 2025 – Katikkiro Mayiga wakubalambika ebifa embuga

May 20, 2025
Ababaka b’oludda oluvuganya government baddukidde mu kooti – bawakanya etteeka ly’amagye eryanjuddwa mu parliament

Ababaka b’oludda oluvuganya government baddukidde mu kooti – bawakanya etteeka ly’amagye eryanjuddwa mu parliament

May 20, 2025
Masaza Cup 2025 – Mawogola eronze Asaph Mwebaze ng’omutendesi omuggya

Masaza Cup 2025 – Mawogola eronze Asaph Mwebaze ng’omutendesi omuggya

May 20, 2025
Abakuumi balwanidde sente shs 13000 e Kabowa – omu asse munne

Ab’emmundu banyaguludde mobile money e Kasenge

May 20, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Obwakabaka bwa Buganda butongozza wiiki y’obutonde bwensi – essira lyongeddwa kukusimba emiti

by Namubiru Juliet
May 26, 2022
in BUGANDA, Nature
0 0
0
Obwakabaka bwa Buganda butongozza wiiki y’obutonde bwensi – essira lyongeddwa kukusimba emiti
0
SHARES
186
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Obwakabaka bwa Buganda butadde amaanyi ku nsonga y’okuzzaawo ebibira mu Uganda,mu kawefube wokutaasa obutonde bwensi.

Minister wa Buganda avunanyizibwa ku Butonde bwensi, obulimi, ettaka, bulungi bwansi n’ogwegassi Owek. Hajati Mariam Mayanja Nkalubo agambye nti Obuganda bwongedde okukunga abantu okusimba emiti n’okugirambirira, nga kwotadde n’obutonde obulala bwona.

Owek. Mariam Mayanja annyonyodde nti  ennono n’obuwangwa bwa Buganda bisinga kutambulira ku butonde  bwansi , naddala emiziro gy’ebika.

Agambye nti buli mwami wa mutuba alina okusimbibwa emiti, so nga n’enkola y’okusimba emiti ku mikolo gy’okwanjula nayo ejjumbiddwa nnyo.

Mu nteekateeka eno sipiika w’olukiiko lwa Buganda Owek.Patrick Luwaga Mugumbule, atongozza wiiki y’okwongera okumanyisa abantu ku bukulu bw’obutonde bwensi, emikolo gibadde mu Bulange e Mengo.

Sipiika Luwaga Mugumbule agambye nti singa ebibira tebizzibwawo, n’entobaI okukuumibwa obutiribiri, Uganda ekyali mu kakyabaga k’okulumbibwa ebibanga ebyenjawulo.

Awadde ekyokulabirako eky’olutobazi lwa Lwera olulimwamu omuceere,gwagambye nti eddagala erifuuyira ligwera mu nnyanja, amazzi negakosebwa, ebyennyanja ebirimu n’ebirala.

Sipiika asabye ba Jjaja abataka abakulu abobusolya okwongera okuwabula abazzukulu ku nsonga z’obutondebwensi .

Wabaddewo omusomo ogwenjawulo ogugendereddwamu okubangula abakulembeze mu Buganda ku nteekateeka eno,olwo bajitambuze okutuuka ku bantu bonna naddala eri abavubuka.

Omukubiriza woolukiiko lw’abataka omutaka Augustine Kizito Mutumba yaggaddewo omusomo guno ogukwata ku butondebwensi,nasaba abakulembeze okuwaayo akadde akawera okukubiriza abantu okukuuma obutonde.

Omusomo gwetabiddwamu abakulembeze ku mitendera gyonna omubadde Bajjaja abataka b’obusolya ,abaami abamasaza ,abakulembeze babakyala ,abakulembeze babavubuka abakungu okuva mu government eyawakati nabalala, nga gubadde ku mbuga enkulu eyobwa Kabaka Bulange Mengo .

Nicholas Magala akulira ebyobutondebwensi mu Ministry ya Water ne environment mu government eyawakati,  agamba nti kyebagenda okusaako essira nga government kwekuteekesa mu nkola amateeka gonna agateekebwawo okukuuma obutondebwensi mu nkola .

Wiiki y’obutondebwensi yakutambulira kumulamwa ogugambanti Obutondebwensi bwamugaso eri ebitonde.

Sipiika w’olukiiko lwa Buganda Owek.Luwaga Mugumbule,omumyuka wa president Jesca Alupo,minister w’ettaka n’obutonde Owek.Mariam Mayanja,sipiika w’olukiiko lw’essaza Busiro Eron Bbuye

Buganda era yegasse ku nteekateeka ya government ey’owakati eyatongozeddwa eyitibwa Running Out of Trees (ROOTS),ng’ekigendelerwa kyakusimba emiti obukadde 40M buli mwaka.

Enkola eno yatongozeddwa mu Entebbe Botanical gardens, nga government eyawakati ekolera wamu n’obwakabaka bwa Buganda n’ebitongole ebyenjawulo.

Akulira ekitongole ekivunayizibwa ku butonde bwensi  mu ggwanga ekya National Environment Management Authority Dr. Akankwasa Barirega agamba, nti  ekigendelerwa  ky’akulaba nga mu mwaka 2030 ebibira mu Uganda birina okuba nga bituuka ku bitundu 15% .

Bisakiddwa: Nakato Janefer ne Diana Kibuuka

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Ababaka ba parliament 7 besozze NUP nga wabulayo mbale okutuuka ku kalulu ka 2026
  • Aba NRM abaataataganya okulonda kwe Ssembabule kooti ebayimbudde
  • Omulamuzi Simon Byabakama ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ayagala abasirikale abatabangula okulonda bakangavvulwe olw’okugotaanya ebyenfuna by’eggwanga
  • Busiro CBS Pewosa Sacco etuuzizza Ttabamiruka wa 2024 – Omumbejja Aisha Nakalema Kabejja alondeddwa nga ssentebe omuggya
  • Enkalu zeyongedde mu musango oguvunaanibwa Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya – baziddwayo ku alimanda

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -