• Latest
  • Trending
  • All
Olunaku lw’ensi yonna olw’okukuuma empisi lukuzibwa leero – empisi ziriko eddagala era ziriibwa

Olunaku lw’ensi yonna olw’okukuuma empisi lukuzibwa leero – empisi ziriko eddagala era ziriibwa

April 27, 2022
Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala

Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala

May 17, 2025
Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya

Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya

May 16, 2025
People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

May 16, 2025

Kooti ensukkulumu egobye omusango gw’okujulira ku by’okutunda National Bank of Commerce

May 16, 2025
Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375

Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375

May 15, 2025
Emmamba Namakaka ewanduse mu mpaka z’omupiira gw’ebika 2025 – Omutima Omusagi guwangudde

Emmamba Namakaka ewanduse mu mpaka z’omupiira gw’ebika 2025 – Omutima Omusagi guwangudde

May 15, 2025
UEDCL erangiridde ebituukiddwako mu nnaku 41 ezisoose ng’eweereza bannauganda okuva ku UMEME

UEDCL erangiridde ebituukiddwako mu nnaku 41 ezisoose ng’eweereza bannauganda okuva ku UMEME

May 15, 2025
America edduukiridde Uganda n’ebikozesebwa mu by’obujjanjabi bw’obulwadde bw’Akafuba

America edduukiridde Uganda n’ebikozesebwa mu by’obujjanjabi bw’obulwadde bw’Akafuba

May 15, 2025
Parliament etandise okwekenneenya ennoongosereza mu tteeka erikwata ku ggye ly’eggwanga

NIRA efulumizza ebirina okugobererwa abagenda okuzza obuggya endagamuntu

May 14, 2025
Parliament etandise okwekenneenya ennoongosereza mu tteeka erikwata ku ggye ly’eggwanga

Obukiiko bwa parliament butandise okwekenneenya ennoongosereza ku ttaaka erifuga amagye – ensonga ya kkooti y’amagye etabudde abakaka

May 14, 2025
Buddo SS yetisse empaka z’amasomero eza – USSSA

Buddo SS yetisse empaka z’amasomero eza – USSSA

May 14, 2025
Abakozi ba CBS  bakyalidde Nnaalinnya Dorothy Nassolo ku lunaku lw’amazaalibwage

Abakozi ba CBS bakyalidde Nnaalinnya Dorothy Nassolo ku lunaku lw’amazaalibwage

May 14, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Olunaku lw’ensi yonna olw’okukuuma empisi lukuzibwa leero – empisi ziriko eddagala era ziriibwa

by Namubiru Juliet
April 27, 2022
in Amawulire, Features, Nature
0 0
0
Olunaku lw’ensi yonna olw’okukuuma empisi lukuzibwa leero – empisi ziriko eddagala era ziriibwa
0
SHARES
565
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Diana Kibuuka

Empisi kye kisolo ekisinga okumanyibwa okuba eky’amaddu amangi, era ng’ebeera erookeera buli kanyama keraba.

Empisi nsolo zirya era ziwoomerwa nnyo ennyama, wabula nga zirimu n’ebika ebimu ebirya enkuyege zokka.

Empisi y’ensolo esinga munsi yona okuba n’oluba olw’amaanyi.

Oluba lw’empisi lusobola okukutula n’okugaaya buli kika kya ggumba.

Empisi zirimu ebika 4; kuliko; Empisi erina enkuubo nga eza Tiger ( Stripped Hyena), Empisi eya langi eyakitaka ( Brown Hyena), Empisi eyefananyiriza Ekibe( Aardwolf Hyena ) n’ Empisi ey’amabala (Spotted Hyena).

Wano mu Uganda Empisi esinga okulabika yeeyo eyamabala – Spotted Hyena, era mu bika ebina by’etwogeddeko  eno y’esingamu obunene, era ng’empisi zisobola okuzitowa wakati wa kilo 4o – 80.

Zifaananamu embwa, wabula tezigwa mu bika bya nsolo z’akika kya Mbwa, wadde ekika kya Kkapa omuggwa Empologoma, n’Engo.  Zzo  Empisi ziri mu kika kyazo zokka eky’ Empisi.

Wano mu Africa,empisi eyogerwako ebintu bingi  ebireetera abantu okugiraba ng’ensolo enzibu ddala.

Empisi erabika bubi,erina amaddu , esseka bubi, ntitiizi, nsiru ate naffu.

Waliwo n’ebirowoozebwa nti Empisi eno ey’amabala (kye kika ekiri mu Uganda) nti ekyusa obutonde bwayo,oluusi n’eba nkazi ate oluvanyuma lw’omwaka n’efuuka ensajja!!

Ebyo byona ebyogeddwa ku Mpisi byava ku bantu ba bulijjo engeri gyebawulira n’okulaba empisi gyeyeyisaamu.

Johnson Thembo Puruka omusomesa w’eby’obutonde ku kuumiro ly’ebisolo e Ntebe erya  Uganda Wildlife Conervation Eduaction Center (UWEC) gyetumanyi ennyo  nga Zoo, agamba nti Empisi tekyusa kikula kyayo ng’abamu bwebalowooza.

Wabula kino kiri ku Mpisi enkazi erina obutonde bwayo obw’ebitundu eby’ekyama,  obw’akula nga obw’Empisi ensajja.

Puruka era anyonnyola nti singa Empisi ntitiizi singa tezisobola kweyiggira mmere gyezirya,kubanga zisinga kubeera kumpi n’ensolo endala enkambwe nga  Empologoma oba ensolo endala zimulya nnyama, okwefunira ku nnyama gyeziba gireseewo.

Wano abantu webasinziira okulowooza nti nnafu era ntiitiizi.

Empisi nsolo etasobola bulamu bwa ssekinnomu era zisinga kubeera mu bibinja (mu lungereza ebibinja by’empisi biyitibwa clans).

 Buli kibinja kya Mpisi kibeeramu Empisi eziri wakati 10 -100, era nga  bweguli n’emuggana ly’Enjovu, Empisi enkazi zezikulira ebibinja.

Wabula obukulembeze buno tebufunirwa ku mukeeka,  wabaawoo okuvuganya wakati w’empisa ezetaaga okukulembera ebibinja ebyo.

Okuvuganya kuno kubeera munneeyisa naddala mukuyigga emmere n’okufaayo okulaba ng’empisi ento zifuna emmere emala, n’okukuuma obulungi  ebibinja ebyo.

Empisi oluweza emyaka 2 zinaazo zijitwala okuba ng’ekuze era nayo esuubirwa okutandika okuyigga.

Empisi ensajja bwezivubuka zaabulira ekibinja mweziba zizaaliddwa,  nezinoonya ebibinja mwezikulira. Wano abakugu kyebalowooza okuba nti enkola eno tewa mwagaanya Mpisi nsajja kukulembera bibinja,kuba buli kibinja gyeziba ziraze okukulira zisangayo enkazi zaayo ezikulembera.

Buli kibinja kibeera n’amatwale gakyo era gekitwala okuba amaka gaazo.

Amaka ago gabeerako obulambe oba zigazimba zigeetolooza obusa bwazo.

Kikakata ku buli mpisi obutamala gamansa busa buli wesanze, ebeera erina kugenda zinaazo wezibussa nebukolanga  olugo oba ekikomera ekyawula amatwale g’ekibinja mwebeera.

Empisi ensajja tesobola kufuna mukyala okuva mu kibinja mwebeera oba mweyazaalibwa, erina kumufuna mu kibinja ekirala.

Zibeerako zonna nga zekukumye wakati w’ennaku 4 ne 8 era olumala okufuna olubuto, nga buli emu eddayo mu kibinja kyayo.

Olubuto lw’empisi lukulira mu myezi esatu.

Empisi ekaluubirizibwa nnyo mu by’okuzaala, anti awayita omwana wafunda nnyo.

Obukyala bw’empisi enkazi obufaanana ng’obwensajja

Empisi esobola okuzaala abaana  abali wakati wa 2  na  3 omulundi gumu. (Obwana bw’empisi mu lungereza buyitibwa cubs)

Empisi esobola Okuwangaala wakati wa myaka 20- 25.

Okusinziira ku kitongole kya African Wildlife Foundations, empisi zongedde okukendeera mu bungi, mpozzi n’obuwangaazi, olwokuba nti tezikyalina bwezetaaya bulungi, olw’abantu abasenze mu bifo mwezandibadde zetaayiza.

So nga neebyo ebitasulamu bantu bizimbiddwamu enguudo, amasamba wamu n’okufuuka ebyobulambuzi.

Olw’embeera y’empisi ey’okulya ennyama, nazo tezekomako zirya ebisolo ebirundibwa n’okulya abantu bennyini.

Wano wewava kalumanywera, omuntu olulaba ku mpisi abeera alina kugitta okwewala ebinaddirira.

Bannabutonde wano webaava okusaawo olunaku luno olwa nga 27 April, buli mwaka lukuzibwe mu nsi yonna, nekigendererwa eky’okutaasa empisi obutasaanawo kubanga kyabutonde, kyabulambuzi, kiriko eddagala lingi, so ngeera ziryibwa.

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala
  • Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya
  • People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga
  • Kooti ensukkulumu egobye omusango gw’okujulira ku by’okutunda National Bank of Commerce
  • Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -