Bya Diana Kibuuka
Empisi kye kisolo ekisinga okumanyibwa okuba eky’amaddu amangi, era ng’ebeera erookeera buli kanyama keraba.
Empisi nsolo zirya era ziwoomerwa nnyo ennyama, wabula nga zirimu n’ebika ebimu ebirya enkuyege zokka.
Empisi y’ensolo esinga munsi yona okuba n’oluba olw’amaanyi.
Oluba lw’empisi lusobola okukutula n’okugaaya buli kika kya ggumba.
Empisi zirimu ebika 4; kuliko; Empisi erina enkuubo nga eza Tiger ( Stripped Hyena), Empisi eya langi eyakitaka ( Brown Hyena), Empisi eyefananyiriza Ekibe( Aardwolf Hyena ) n’ Empisi ey’amabala (Spotted Hyena).
Wano mu Uganda Empisi esinga okulabika yeeyo eyamabala – Spotted Hyena, era mu bika ebina by’etwogeddeko eno y’esingamu obunene, era ng’empisi zisobola okuzitowa wakati wa kilo 4o – 80.
Zifaananamu embwa, wabula tezigwa mu bika bya nsolo z’akika kya Mbwa, wadde ekika kya Kkapa omuggwa Empologoma, n’Engo. Zzo Empisi ziri mu kika kyazo zokka eky’ Empisi.
Wano mu Africa,empisi eyogerwako ebintu bingi ebireetera abantu okugiraba ng’ensolo enzibu ddala.
Empisi erabika bubi,erina amaddu , esseka bubi, ntitiizi, nsiru ate naffu.
Waliwo n’ebirowoozebwa nti Empisi eno ey’amabala (kye kika ekiri mu Uganda) nti ekyusa obutonde bwayo,oluusi n’eba nkazi ate oluvanyuma lw’omwaka n’efuuka ensajja!!
Ebyo byona ebyogeddwa ku Mpisi byava ku bantu ba bulijjo engeri gyebawulira n’okulaba empisi gyeyeyisaamu.
Johnson Thembo Puruka omusomesa w’eby’obutonde ku kuumiro ly’ebisolo e Ntebe erya Uganda Wildlife Conervation Eduaction Center (UWEC) gyetumanyi ennyo nga Zoo, agamba nti Empisi tekyusa kikula kyayo ng’abamu bwebalowooza.
Wabula kino kiri ku Mpisi enkazi erina obutonde bwayo obw’ebitundu eby’ekyama, obw’akula nga obw’Empisi ensajja.
Puruka era anyonnyola nti singa Empisi ntitiizi singa tezisobola kweyiggira mmere gyezirya,kubanga zisinga kubeera kumpi n’ensolo endala enkambwe nga Empologoma oba ensolo endala zimulya nnyama, okwefunira ku nnyama gyeziba gireseewo.
Wano abantu webasinziira okulowooza nti nnafu era ntiitiizi.
Empisi nsolo etasobola bulamu bwa ssekinnomu era zisinga kubeera mu bibinja (mu lungereza ebibinja by’empisi biyitibwa clans).
Buli kibinja kya Mpisi kibeeramu Empisi eziri wakati 10 -100, era nga bweguli n’emuggana ly’Enjovu, Empisi enkazi zezikulira ebibinja.
Wabula obukulembeze buno tebufunirwa ku mukeeka, wabaawoo okuvuganya wakati w’empisa ezetaaga okukulembera ebibinja ebyo.
Okuvuganya kuno kubeera munneeyisa naddala mukuyigga emmere n’okufaayo okulaba ng’empisi ento zifuna emmere emala, n’okukuuma obulungi ebibinja ebyo.
Empisi oluweza emyaka 2 zinaazo zijitwala okuba ng’ekuze era nayo esuubirwa okutandika okuyigga.
Empisi ensajja bwezivubuka zaabulira ekibinja mweziba zizaaliddwa, nezinoonya ebibinja mwezikulira. Wano abakugu kyebalowooza okuba nti enkola eno tewa mwagaanya Mpisi nsajja kukulembera bibinja,kuba buli kibinja gyeziba ziraze okukulira zisangayo enkazi zaayo ezikulembera.
Buli kibinja kibeera n’amatwale gakyo era gekitwala okuba amaka gaazo.
Amaka ago gabeerako obulambe oba zigazimba zigeetolooza obusa bwazo.
Kikakata ku buli mpisi obutamala gamansa busa buli wesanze, ebeera erina kugenda zinaazo wezibussa nebukolanga olugo oba ekikomera ekyawula amatwale g’ekibinja mwebeera.
Empisi ensajja tesobola kufuna mukyala okuva mu kibinja mwebeera oba mweyazaalibwa, erina kumufuna mu kibinja ekirala.
Zibeerako zonna nga zekukumye wakati w’ennaku 4 ne 8 era olumala okufuna olubuto, nga buli emu eddayo mu kibinja kyayo.
Olubuto lw’empisi lukulira mu myezi esatu.
Empisi ekaluubirizibwa nnyo mu by’okuzaala, anti awayita omwana wafunda nnyo.
Empisi esobola okuzaala abaana abali wakati wa 2 na 3 omulundi gumu. (Obwana bw’empisi mu lungereza buyitibwa cubs)
Empisi esobola Okuwangaala wakati wa myaka 20- 25.
Okusinziira ku kitongole kya African Wildlife Foundations, empisi zongedde okukendeera mu bungi, mpozzi n’obuwangaazi, olwokuba nti tezikyalina bwezetaaya bulungi, olw’abantu abasenze mu bifo mwezandibadde zetaayiza.
So nga neebyo ebitasulamu bantu bizimbiddwamu enguudo, amasamba wamu n’okufuuka ebyobulambuzi.
Olw’embeera y’empisi ey’okulya ennyama, nazo tezekomako zirya ebisolo ebirundibwa n’okulya abantu bennyini.
Wano wewava kalumanywera, omuntu olulaba ku mpisi abeera alina kugitta okwewala ebinaddirira.
Bannabutonde wano webaava okusaawo olunaku luno olwa nga 27 April, buli mwaka lukuzibwe mu nsi yonna, nekigendererwa eky’okutaasa empisi obutasaanawo kubanga kyabutonde, kyabulambuzi, kiriko eddagala lingi, so ngeera ziryibwa.