Omuteebi wa club ya KCCA eya Uganda Premier League, Shaban Muhammad, wakwabulira club eno kunkomerero y’omwezi guno ogwa June 2024 ng’endagaano ye eweddeko, oluvannyuma lw’enjuyi zombiriri okulemererwa okukaanya kundagano empya.
Wabula Shaban Muhammad yabadde akirizza okuzza obugya endagano ye ne KCCA, kyokka abakulu ne balemererwa okukaanya kunsimbi zayagala.
Andrew Mukiibi Sserunjogi ssentebe wa KCCA, bweyabadde yetabye munsisinkano nabawagizi ba KCCA ku Sunday ewedde, ono yakakasiza abawagizi bano nti KCCA terina nsimbi Shaban Muhammad zeyabasabye okuzza obugya endagano ye.
Shaban Muhammad yasabye ensimbi obukadde 225 okuzza obugya endagaano eno ate n’ensimbi obukadde 7 nga omusaala ogwa buli mwezi.
Kyokka ensonda ezesigika zikakasiza nti Shaban Muhammad yakakanyizamu ku miwendo gino, nasaba obukadde 100 okuzza obugya endagano ye ate n’ensimbi obukadde 5 nga omusaala ogwa buli mwezi, wabula era abakulu ne beerema.
Shaban Muhammad ye muzannyi eyasinze okuteeba goolo ennyingi mu Uganda Premier League season ewedde ne goolo 7, ate era yoomu ku bazannyi abavuganya kungule y’omuzannyi asinze okucanga endiba season ewedde.
Club ya Yanga Africans eya Tanzania ne Gor Mahia eya Kenya nazo zegwanyiza omuteebi ono.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe