Emmotoka esomba ettaka eremeredde omugoba waayo mu bitundu bye Lubya mu gombolola ye Lubaga mu Kampala, esse abantu 3 abalala baddusiddwa mu malwaliro nga bali mu mbeera mbi.
Emmotoka eno kika kya Tipa No. UBA 580 W eremereddwa okusiba ng’ekkirira akaserengeto, nesalamu oluguudo neyingirira saloon ebaddemu abavubuka abasiiga enjala n’ettako omu.
Esibidde mu luwonko olusimibwamu omusingi gw’ekizimbe kya Kalina, abavubuka 2 abagibaddeko rmabega abatikka ettaka nabo gyebagwiridde.
Police eyitiddwa n’eggyayo emirambo n’abalumiziddwa baddusiddwa mu malwalito ng’embeera tewoomya Nakabululu.
Abamu ku badduukirize basazeewo kukuuliita n’ebimu ku byuma by’emmotoka abalala balonzelonze ebibaddewo naddala abavubuka abalonda sikulaapu.
Bisakiddwa : Lukenge Sharif