Ekitongole ekiddukanya ekibuga Kampala kitandise okuddaabiriza enguudo eziri mu kibangirizi kya bannamakolero mu Kampala, ezibadde tezikyayisikamu.
Bwabadde atongoza okuzimba enguudo omuli olwa 5th, 6th ,7th ne 8th Street mu Kampala, ssenkulu wa KCCA Dorothy Kisaka asabye abasuubuzi abagenda okukosebwa okubeera abakkakkamu, ng’enguudo zino bwezikolebwa.
Kisaka agambye nti newankubadde enguudo mu Kampala tezinnatuuka ku mutindo gwetaagisa, abagoba b’ebidduka basaanye okufaayo ku nkozesa yaazo ennungi bakendeeze ku bubenje omufiira abantu.
Kisaka asabye abagoba ba Bodaboda okugondera amateeka gokunguudo.
Emyezi 2 egiyise president Yoweri Kaguta Museven yalagira ministry y’ebyensimbi okuwa KCCA obuwumbi bwa shs 6, ziyambeko okuziba ebinnya ebisukkiridde mu nguudo za Kampala.
Bisakiddwa: Kato Denis