Eyali president wa FDC Dr.Kiiza Besigye alagiddwa okusasula akakalu ka kooti ka bukadde 3 okuva ku bukadde 30,obwali busoose okumulagira okusasula.
Omulamuzi wa kkooti enkulu Michael Elubu agambye nti omulamuzi Siena Owomugisha, okusaba Besigye obukadde 30 ku musango gw’okukuma omuliro mu bantu, tekyali kya buntubulamu n’akatono, era nti kyeyolekanga gweyali asalidde omusango n’amuwa n’ekibonerezo.
Ensala y’omulamuzi Elubu esomeddwa omuwandiisi wa kooti Festo Nsenga, agambye nti omusango ogw’engeri eno guwebwako ekibonerezo kyakusibwa emyaka 3 eri omuntu gwegubeera gusse mu vvi, oba okuwa engassi etasukka shs 1,440,000/=.
Omulamuzi Elubu agambye nti olw’okuba Besigye yakwatibwa ne banne abalala basatu, era bbo nebateebwa ku kakalu ka shs akakadde kamu ate abamu tebaasasula wadde ennusu nebayimbulwa ku kakalu, nti omulamuzi abeera yakozesa obukambwe obusukkiridde ku Besigye okumulagira okusasula akakalu ak’obukadde 30.
Besigye bweyalagirwa okusasula ensimbi ezo, yagaana n’asindikibwa ku alimanda e Luzira gyamaze ennaku 13.
Munnamateeka we Erias Lukwago yaddukira mu kooti enkulu ng’ayagala ekendeeze ku nsimbi ezaali ziragiddwa omuntu we okusasula, nti tezaali zabwenkanya.
Besigye avunaanibwa okukuma omuliro mu bantu, olw’ebbeeyi y’ebintu eyekanamye mu ggwanga.
Oludda oluwaabi lugamba nti nga 24th may,2022 Besigye yasinziira ku Arua Park ku kyalo ekiyitibwa Munno mu kibuga Kampala, n’atandika okukunga abantu mu mbeera eyali egenderera okubakumamu omuliro, ekyali kiyinza okuviirako obutabanguko mu kibuga n’okwonoona ebintu.
Abamweyimirira okuli eyali omubaka wa Bukooli county era eyakulirako oludda oluvuganya government mu parliament Wafula Ogutu n’omumyuka wa ssaabawandiisi wa FDC Harold Kaija bbo baalagirwa okusasula akakalu ka bukadde bwa shs 70m ezitali za buliwo, era zzo tezisaliddwako.
Besigye alagiddwa okudda mu kooti nga 16 June,2022 okumusomera omusango ogumuvunaanibwa.