Ssanyu gyereere Ssaabasajja Kabaka Ronald Edward Frederick Kimera Muwenda Mutebi II, okutuuka ku mazaalibwage ag’omulundi ogwe 67 olwa leero.
Yoogayooga Ssaabasajja Kabaka Sserwattika lwa ttaka , Ggundagunda Ssebugulubwanyomoobukaza omuwanda ,Lemeeralemeera Lukomwa Nantawetwa,Wookotawokota omwana wa Muteesa.
Ssabasajja Kabaka yazaalibwa Ssekabaka sir Edward Muteesa II n’omuzaana Kabejja Sarah Nalule ennaku z’omwezi nga 13/Kafuumulampawu /April 1955.
Yatuuzibwa ku Nnamulondo yabajjajabe nga 31 july, 1993 nga Kabaka wa Buganda owa 36.
Nnyininsi ebbanga lyonna azze akubiriza abantu be okubeera obumu era mu mwaka gwa 2014 mu mwezi gwa January bweyali nga alambula abantu be mu ssaza Bugerere, yalagira Obuganda okwongera okukolera awamu n’okunyweza obumu ng’empagi ey’okubuvvuunusa emitego n’amayengo gonna.
Obuganda bumaze ebanga nga bwenyigira mu nteekateeka yokujjaguza amazaalibwa g’e Mpalabwa n’emikolo egyenjawulo, omubeera n’emisinde gy’amazaalibwa ga Beene.
Ku mulundi guno enteekateeka eno yayoongezeddwayo,era Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ,agambye nti emikolo gino gyonna gyakukolebwa nga Ssaabasajja akomyewo okuva emitala w’amayanja.
Abantu ba Buganda naddala abavubuka benyumiriza nnyo munteekateeka y’emipiira gya masaza eyambye ennyo okusitula ebitone by’a bavubuka mu masaza gonna 18.
Ssabasajja yasiima empaka za masaza ez’omupiira ogw’ebigere neziddamu okuzanyibwa mu 2004,era werutukidde olwaleero nga abavubuka bangi bafunye emirimu mu club ezababinywera wano mu Uganda n’ebweru wa Uganda ate ne ku ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes.
Kalemakansinjo era yasiima empaka za masaza zino zitambulire ku miramwa egizimba abantube,nga kati omulamwa oguliwo gwakulwanisa mukenenya.
Abamu ku bakyala abazze bafuna obujjanjabi obwobwerere obwabawebwa Kabaka okujjanjabwa ekirwadde kya Fistula nga bakulembeddwamu Dr Sr Immerida Nabukalu akulira eddwaliro lye Kitovu bebaziza Bbeene olwokubawa obujjanjabi ku bwereere n’okubazaamu essuubi,awamu n’okusomesa abantu naddala abavubuka okusookanga okwekebeza oba nga tebalina butafaali buyinza kuvaviirako okuzaala abaana abalina ekirwadde kya sicklecells oba Nalubiri.
Ssabasajja era nga yita mu byemizannyo atumbudde ebyobulamu mu bantube naddala nga ayita mu misinde egikulemberamu ebikujjuko by’a mazaalibwage.
Emizannyo okuli emipiira gy’ebika giyambye nnyo okuggata abantu ba Buganda ate n’okwongera okunnyikiza ennono n’obuwangwa mu bantube.