Ye munnakisinde kya the renewed Uganda Kisoboka, asimbudde okuva ku ofiisi zekisinde kino e Kololo okwolekera e Kyambogo gyagenda okusunsulirwa ku saawa musanvu.
Tumukunde bwabadde asimbula okuva ku ofiisi ze e Kololo, agambye nti akalulu kano ssi kamuzannyo, kakukyuusa ggwanga bwaatyo nasaba bannayuganda beenyigire butereevu mu kulonda.
Tumukunde mu kiseera kino atuuse e Kyambogo okwewandiisa, nga tambulidde muluseregende lwemmotoka okutuukayo, nga bwagenda awawuubira ku bantu, wabula Police ebadde yeenyoola nabo.