Vipers Sports Club egucangira mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League, yesozze oluzannya olwakamalirizo olw’empaka za Uganda Cup.
Vipers FC ekubye club ya Mbarara City goolo 4 – 0 mu kisaawe kya St Mary’s e Kitende.
Vipers kati eyisewo ku mugatte gwa goolo 6 – 1 nga oluzannya olwasooka era Vipers yaluwangula goolo 2 – 1 e Mbarara.
Vipers kati erindiridde omuwanguzi wakati wa BUL ne Booma ezigenda okuzannya olunaku olw’enkya e Jinja.
Omupiira guno nagwo gwakudingana, nga oluzannya olwasooka BUL yaluwangula goolo 5 – 1 e Masindi.