Club ya Vipers egucangira mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League yekubidde enduulu mu kibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA nga yemulugunya ku nnamula embi ey’omupiira eyayoleseddwa bweyabadde ettunka ne Kitara mu mpaka za Uganda Cup ku mutendera gwa quarterfinal.
Omupiira guno gwazanyiddwa ku Sunday ewedde nga 14/04/24 mu kisaawe e Masindi, era Kitara yawanduddemu Vipers ku goolo 5-4 eza peneti, oluvanyuma lw’okulemagana goolo 2-2 mu dakiika 120.
Vipers mu bbaluwa gy’ewandiikidde FUFA ng’etereddwako omukono Simon Peter Njuba akulira eby’emirimu mu Vipers, araze nti ddifiri eyalamula omupiira guno Ali Sabila Chelengat yalina kyekubiira mu mupiira.
Mu bbaluwa eno banokoddeyo ekikolwa ekyaliwo mu dakiika eye 66, nti ddifiri ono yagabira Kitara peneti gyebabuusabuusa ate nga mu dakiika eye 87 ddifiri ono yagaana okuwa Vipers peneti gyebalowooza nti yagaanibwa mu bukyamu.
Mu bbaluwa eno era Vipers etaddemu obutambi obunyonyola embeera bweyali.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe