Government ya Uganda ng’eri wamu nÉkitongole kyámawanga amagatte ekyÓbuwangwa nébyenjigiriza ki UNESCO byeyamye okukwasizaako Obwakabaka bwa Buganda okuwa obukuumi obumala ku masiro g’e Kasubi, ng’ekifo ky’eby’obulambuzi eky’ensi yonna.
Amasiro ge Kasubi omusangibwa ennyumba Muzibwazaalampanga gakwata omuliro mu mwaka 2010 , era okuva olwo government zámawanga agenjawulo nga zikulembeddwamu eya Uganda ziriko obuyambi bweziwaddeyo okugazaawo.
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll gyebuvuddeko bweyasiima okusisinkana abakulu mu UNESCO abaamusisinkana mu Lubiri e Mengo, yasiima UNESCO ekkirize Amasiro ge Kasubi gaguibwe ku lukalala lwébifo byÓbuwangwa era ebyÓbulambuzi munsi yonna ebiri mu katyaabaga.
Amyuka omubaka wa Japan mu Uganda Yoshimura Tomotaka bw’abadde alambuzibwa amasiro gano, agambye nti omulimu ogukoleddwawo, kabonero akalaga nti Obuwangwa bwa Buganda bwa nkizo ku nkulaakulana yábantu babwo.
Yoshimura agambye nti akozesezza omukisa gw’okulambula amasiro e Kasubi, okujjukira emyaka 100 bukyanga muyaga gw’amaanyi gukuba Japan negwonoona ebintu byÓbuwangwa, nti era y’ensonga lwaki baasalawo okuwa Obwakabaka ebyuma ebizikiriza Omuliro.
Minister wébyobuwangwa nÉnnono, amasiro nÉbyokwerinda Owek Anthony Wamala agambye nti Amasiro ge Kasubi kati gawa essuubi, era akadde konna , ekitongole kyébyenjigiriza nÓbulambuzi munsi yonna ki UNESCO, kyekirindiriddwa okukola okusalawo okwenkomeredde ku kuggulibwawo kwago.
Jackeline Nyerakiiza Besigye akolanga commissioner ku nsonga zébyobuwangwa mu government eyawakati agambye nti Obwakabaka butuuse ku buwanguzi obulabwako mu kuzzaawo Amasiro, era neyeeyama nti bakwongera okukuumibwa obutiribiri.
Ebimu ku bifo ebirambuddwa mubaddemu ebyuma ebizikiza Omuliro, okulagibwa obukugu bwábazikiza Omuliro, okulambuzibwa oluzzi omuli amazzi agayinza okukozesebwa okulwanyisa omuliro, neebirala bingi.
Bisakiddwa: Kato Denis