Ab’ekitongole ky’ekibiina ky’amawanga amagatte ekirwanyisa obulwadde bwa ssiriimu mu nsi yonna, ekya UNAIDS beeyanzizza nnyo Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’amaanyi gaatadde mu kaweefube w’okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya mu Buganda, Uganda ne ssemazinga Africa okutwalira awamu.
UNAIDS yasaba Ssaabasajja asiime abeere emmunyeenye y’okulwanyisa ssiriimu mu Africa, Omutanda kyeyakkiriza era omulimu agukutte kannabwala.
Ssenkulu wa UNAIDS mu nsi yonna Prof. Sheila Thou bwabadde asisinkanye Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu Bulange e Mengo, agambye nti omulimu Ssaabasajja gwakoze mu kulwanyisa mukenenya gukoze kinene nnyo okukendeeza ku muwendo gw’abantu abakwatibwa obulwadde buno.
Prof Thou agambye nti ng’ekitongole kya UNAIDS omulimu gwabwe gwawewuka nnyo olwa Ssaabasajja okubakwatirako.
Embeera eno bagyesigamizza ku ngeri abantu abawera gyebawulirira n’okukkiririza mu ddoboozi lya Kabaka, naddala abasajja abaali batafaayo ku byabulwadde buno kati beekebezza, ate abazuuliddwa n’obulwadde banyiikidde okumira eddagala.
Ssaabasajja Kabaka yasiima kaweefube ono okumutambuliza ku basajja okubeera abasaale mu kulwanyisa obulwadde bwa ssiriimu nga bataasa omwana omuwala.
Omutanda yalagira abakulembeze ku mitendera gyonna nga bakulemberwa Katikkiro, okubunyisa enjiri y’okulwanyisa obulwadde buno mu bantube babeere balamu ate beekuume.
Prof. Thou mu ngeri y’okulaga okusiima, aliko ejjinja eryomuwendo lyakwasizza Katikkiro Charles Peter Mayiga okumusiima okukwasizaako Maasomooji ku ddimu lyokulwanyisa ssiriimu.
Katikkiro olw’obuvunaanyizibwa bwe, Ssaabasajja bweyamukwasa buli lwabaako basisinka ensonga y’ebyobulamu agisoosowaza nnyo n’okukubiriza abantu ba Kabaka okwekuuma sssiriimu.
“Mukenenya mwangu nnyo okwewala okusinga omusujja gw’ensiri, ensiri ekuluma weebase, naye ssiriimu akukwata eriiso olikanudde nga lya ngege”
Kamalabyonna yeebazizza bannamukago bano olwokumusiima olwomulimu gwakola okuyamba ku Kalemakansinjo okulwanyisa siriimu, lutuuke 2030, nga siriimu afuuse lufumo.
Omulundi ogusookedde ddala, ssenkulu ono Prof Sheila Thou waakwetaba mu misinde gy’amazaalibwa ga Ssaabasajja eginaabaayo ku Sunday nga 16 April, Kabaka gyeyasiimye okusimbula ku ssaawa emu eyokumakya.
Ebibalo biraga nti ekirwadde kya siriimu kyali kikendeddeko naddala wano mu Buganda, wabula olunnabe lw’ekirwadde kya Covid-19 ekyaviirako omuggalo kyaleetera obulwadde okwongera okwegiriisiza mu bannansi.
Kigambibwa nti abantu okuba nti baali tebalina kyebakola, bangi kyabaleetera okwenyigira mu bikolwa ebireeta obulwadde.
Bangi baali tebalina busobozi kutuuka ku malwaliro kwekebeza, abamu eddagala lyabaggwako n’ensonga endala.
Olwokubeera nti mu Buganda mwemusinga abantu abangi mu Uganda, n’obulwadde bwa siriimu bwegiriisirizzaamu nnyo naddala mu masaza agalimu ebizinga nga Ssese, Buvuma ne Busiro.
Katikkiro asuubizza nti Ssaabasajja n’abaami be tebajja kussa mukono okutuusa ng’olutabaalo lw’okulwanyisa siriimu lutuuliddwa ku nfeete.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K