Ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes tegenda kubeera nabazannyi 2 munkambi e Dubai okuli, Derrick Nsibambi ne captain Dennis Masinde Onyango.
Omuzannyi Derrick Nsibambi nga omupiira ogw’ensimbi aguncangira mu club ya Smouha FC eya Misiri yafunye obuvune ate nga captain Dennis Onyango club ye eya Mamerodi Sundowns yagaanye okumuta.
Akawungez k’eggulo abazannyi abazannyira wano basitudde okwolekera e Dubai okwegatta ku bazannyi abannyira e bunayiira, era omwogezi wa FUFA, Ahmed Hussein, akakasiza nti ttiimu eno etuuse bulungi.
Uganda mu nkambi eno egenderedemu okwetegekera okuzannya ne South Sudan emipiira 2 ne South Sudan omwezi ogujja egy’okusunsulamu ensi ezinakika mu mpaka za Africa Cup of Nations ezinabeera e Cameroon omwaka ogujja.