Uganda erondeddwa okutuuza ttabamiruka wa basipiika ba Parliament z’amawanga gonna agali mu luse olumu ne Bungereza olw’omulundi ogwa 27, olumanyiddwa nga CSPOC omwaka ogujja 2024.
Omumyuka wa sipiika wa Parliament ya Uganda Thomas Tayebwa, agambye nti Uganda yeeteeseteese bulungi okutuuza olukungaana luno era balusuubiramu ebirungi bingi ddala, naddala okunyweza obwa sseruganda ne parliament z’amawanga amalala agali mu Common Wealth.
Ttabamiruka ono wakubaayo okuva nga 3 okutuuka nga 6 January 2024.
Thomas Tayebwa mu kiseera kino ali Austria mu ttabamiruka owa 26.
Tayebwa ategeezezza nti eky’okulonda Uganda okutuuza Ttabamiruka ono omukulu bwati, kiraga nti bangi balina obwesige mu Uganda.
“Ennyaniriza yaffe ennungi, yeegombebwa buli muntu kubanga bangi babadde bakingambako, era basuubizza okujja ne family zaabwe baalambule ku kkula”
Tayebwa agamba nti ttabamiruka ono ajja kweyambisibwa ng’emu ku ngeri y’okulaga eby’obulambuzi enfaafa Uganda byerina era byolesebwe mu nsi yonna.
Mu ttabamiruka ono Tayebwa yakoonodde ogufo gw’okubeera omumyuka wa ssentebe wa ba sipiika ba parliament y’amawanga ga Common wealth.#