Government ya Uganda kyadaaki ekkiriza obutaddamu kusasuza bayizi bava mu ggwanga lya South Sudan nsimbi, ng’abayizi abalala abava mu mawanga amalala agatalu mu mukago gwa East African Community.
Abayizi bannansi ba South Sudan, babadde basasuzibwa ebisale ebisukka kubya bannabwe abalala abava mu mawanga ga East Africa okuli Kenya, Rwanda, Tanzania, ne Burundi.
Abayizi okuva e South Sudan ku matendekero agawaggulu babadde basasuzibwa ensimbi ezisoba mu doola 100 gye mitwalo nga 370,000/= ku bisale byabwe okusinga kwezo abalala zebaba balina okusasula.
Wabula government ya South Sudan yakiwakanya ng’egamba nti abayizi bannansi ba south sudan balina kusasulwa ebisale byebimu n’abayizi abalala nti abava mu mukago gwa East african Community.
Omubaka wa South Sudan mu Uganda, Simon Juach Deng Juach, mukwogerako ne bannamawulire ng’asinziira ku kitebe kyabwe e lino e Nakasero mu Kampala, agambye nti baafunye ebbaluwa okuva mu government ya Uganda.
Ebbaluwa eno eriko ennaku z’omwezi 6 September,2023, ekakasa nti abayizi okuva e South Sudan ssibakuddamu kusasuzibwa bisale byakusoma bingi ng’abagwiira abava mu mawanga agatali mu mukago.
Juach Deng, agambye nti kati basigazzaayo ky’a bayizi bano okufuna ebiwandiiko ebibakkiriza okutambula mu Uganda nga baliko obukwakkulizo obusaamusaamu n’okubaggyawo emisoso gyebasasulira ku nsalo
Gyebuvuddeko minister wa East Africa era omumyuka asooka owa ssabaminister wa Uganda Rebecca Alitwala Kadaaga, yatabukira abakulu mu ggwanga lya South Sudan ne Kenya, olwokutyoboola amateeka ku nsalo zabwe ne Uganda, sso nga omukago gwa East Africa gulambika bulungi ebigobererwa ku nsonga eno.
Bisakiddwa: Ddungu Davis